Musaso waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye omutindo ekisaakaate kya 2020 gwe kitegekeddwa bwabadde akiggalawo ku ssomero lya Hana International School e Nsangi. Omuteregga e Nsangi awerekeddwako Maama Nnabagereka Sylvia Nagginda, agambye eggwanga lyonna okukula lirina okusoosowaza obuntu bulamu, ng’era guno gwegubadde omulamwa omukulu ekisaakaate kwe kitambulidde.
Omutanda era asabye abazadde okuyigiriza abaana ebikwata ku mpisa n’ennono, z’eggwanga lyabwe n’agamba nti olwo lwe kinaasoboka okuzimba eggwanga eritegedde obukulu bwe ensibuko yaalyo.
“Tumaze ebbanga nga twogera ku bukulu bw’empisa z’obuntu bulamu era kisanyusa nnyo okulaba ng’omulamwa gw’omwaka guno gusimbye ku nsonaga yeemu.Twagala ensonga y’obuntu bulamu tuleme ku gitunuulira ng’ensonga y’obunafu bw’abantu, naye tugitunuulire nga ensibuko y’enkulaakulana n’obugunjufu ng’abantu baffe bafaayo ku mbeera y’abantu abalala,” Kabaka bwagambye.
“Tulina essuubi nti abaana abatendekeddwa mu kisaakaate bajja kuba basaale mu kwenyumiriza mu mpisa n’ennono n’okuzaagazisa abantu abalala,” Kabaka bwagambye.
Omutanda era asiimye aba Nnabagereka Development Foundation abategeka ekisaakaate olw’omulimu omukulu ennyo gwe bakola okugunjula emiti emito.
Ku lulwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti eggwanga liri mu kaseera akazibu olw’ebikolwa ebikyamu ebigenda mu maaso, n’ategeeza nti ekisaakaate kigenda kuyambako okukuza abaana abanaakyusa embeera eno.
“Ensangi zino, abaana abato balaba ebintu bingi ku ttivi ate abamu balina essimu zirumamyo; kuliko ebintu biyitirivu. Bawulira ebintu bingi nnyo ku leediyo naye byonna nga tebiraga buntubulamu. Balaba abantu abalwana ku ttivi, balaba ababba ebintu bya gavumenti nga babatwala mu kkooti naye nga bamwenyereketa. Balaba ababba ebintu byabalala naddala abanaku abateesobola. Abaana abato balaba abantu abatafaayo ku butonde bwensi; abatema emiti, abamansa kasasiro n’ebiveera. Naye tulina essuubi ddene naddala nti ekisaakaate eky’omwaka guno n’omulamwa ogwatuweereddwa, kinaayigiriza abaana abato nti ebintu byebalaba ku ttivi ebikolebwa abantu ababi era ebiswaza si bya buntubulamu,” Katikkiro bwagambye.
Ategeezezza abazadde nti basaanye okukubiriza abaana okwewala ebikolwa ebitali bya buntubulamu ebiseera by’eggwanga eby’omumaaso bibeere birungi.