Bya Musasi waffe
Pookino Jude Muleke n’abamyukabe batuuziddwa mu butongole mu woofiisi zabwe ku mbuga y’essaza Buddu e Masaka.
Omukolo gw’okutuuza Muleke gu kulembeddwamu Oweek. Christopher Bwanika, Ssaabawolereza w’Obwakabaka bwa Buganda.
Ono e Buddu awerekeddwako Oweek. Joseph Kawuki, minisita avunanyizibwa ku gavumenti z’ebitundu n’etambula za Kabaka.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu bangi omuli ababaka ba palamenti Florence Namayanja, Mathias Mpuuga ne Robina Ssentongo.
Muleke ne banne baalondebwa ku nkomerero y’omwaka ogwaggwa oluvanyuma lwa Ssaabasajja Kabaka okusiima n’akola enkyukakyuka mu b’amasaza.