Bya Stephen Kulubasi
Njeru
Ttiimu ya batabani bakitunzi e Gomba ey’omupiira gw’ebigere bawangudde Busiro bwebatyo nebayitawo okugenda okuzannya fayinolo ate nga Buddu ewangudde Bulemeezi nayo neyitawo era nga kati yakubulonda ne Gomba.

Ttiimu zombi zasoose kulemaganya nga tewali alengedde katimba ka munne mu ddakiika z’omuzannyo 90. Bano bagenze mu kakodyo k’okusimuligana peneti era wano Gomba newangula ku mugatte gwa ggoolo 5-4.
Enjuyi zombi zakoze buli kimu okunoonya ggoolo naye nga emikisa tegiyitamu era okumaliriza nga ttiimu zombi zirumbye obunnya.
Mu mupiira omulala wakati wa Buddu ne Bulemeezi guwedde Buddu eguwangudde ggoolo 1-0 era ng’eno eteebeddwa omusambi Titus Ssematimb mu ddakiika ey’okutaano.
Mu ddakiika zonna eziddiridde wadde nga Bulemeezi efunye emikisa naye kibadde kizibu okunyeenya akatimba ka Buddu era bwetyo Buddu newangula. Nga kati egenda kulumba Gomba battunke.
Fayinolo ya Buddu ne Gomba yakomwa okulabwako mu mwaka gwa 2016 ku mupiira ogwaliko n’obugombe mu kisaawe e Namboole era nga guno Buddu yaguwangulira mu kakodyo k’okusimula peneti.
Olunaku lw’okuzannyirako empaka ez’akamalirizo terunasalwawo wabula nga lusubiirwa okulangirirwa essawa yonna. Era nga Ssabasajja kabaka asuubirwa okusiima okuggalawo empaka zino.









