Bya Betty Namawanda
Masaka
Ekitongole kya gavumenti ekya NAADS kitandise kaweefube w’okuzimba ekyuma ekikamula omubisi mu nnaanansi e Masaka okusobola okwongera omutindo ku birime.

Ekyuma kino ekiweereddwa abalimi mu bitundu by’e Masaka, kyakumalawo obuwumbi bw’ensimbi za Uganda 40 nga kisuubirwa okutandika okukola omwaka ogujja.
Bino byonna byogeddwa abakulu okuva mu NAADS nga basinzidde ku Masaka Rehabilitation Center e Kijjabwemi mu lukiiko lw’ebabaddemu n’abalimi ssaako abakulembeze okuva mu bbendobendo ly’e Buddu. Olukiiko luno lugendereddwamu kusala entotto ku ngeri gye bayinza okutambuza omulimo guno ssaako okuyamba ku balimi.
Mu ngeri y’emu, abalimi basinzidde wano ne basaba balambikibwe bulungi ku ngeri ennaanasi zaabwe gye zigenda okugulwamu wabula nga tebaguliddwa layisi.
Bano era basabye bategeezebwe ku bintu ebigenda okukolebwa na bungi ki obwetaagisa. Bano era basabye aba NAADS okulaba nga badda mu balimi okwongera okubakubiriza okulima ennaanansi mu bungi.
Abalimi era basabye Palamenti ereete etteeka erikugira abagula ebirime mu nkola etali ya kupima mu kkiro gye bagamba nti ebafiiriiza nnyo.
Bo abakugu okuva mu NAADS abakulembeddemu enteekateeka z’okunoonya ekifo awagenda okuzimbibwa ekyuma kino, bategeezezza nti basazeewo ekyuma zimbibwe okumpi n’ekibuga Masaka mu kifo ky’e Kyesiiga mu Bukoto Central, ekiggye abamu ku bakulembeze mu mbeera ne batabuka.
Bano nga bakulembeddwamu Omubaka Omulonde owa Bukoto Central mu Masaka, Richard Ssebamala, bategeezezza nti kino ekikolwa ekikoleddwa ekyuma kino obutazimbibwa Bukoto Central kuba ye wasibuka obulumi bw’ennaanansi. Basabye wabeewo ennongoosereza ku ensonga eno nga bagamba nti abalimi bandikaluubirizibwa olw’olugendo olunene okutambuza ebirime byabwe okubiggya mu Masaka disitulikiti okubireeta mu kibuga Masaka singa abakulu mu NAADS babeera basazeewo okuteeka ekyuma kino mu kitundu kino.
Wabala ye omubaka wa Pulezidenti e Masaka, Fred Bamwine, asinzidde wano n’asaba abalimi b’ennaanansi okwongeramu amaanyi nti kuba kijja kuswaza ekyuma okubeera kuno ate ebirime biggyibwe mu bitundu ebirala.
Abakulu okuva mu NAADS abakulembeddemu enteekateeka eno nga bakulembedwamu Dr. Prossy Mutumba, beeyamye nti bo nga NAADS nti kati essira bagenda kuliteeka ku kukubiriza bantu kulima nnaanansi n’emiyembe mu bungi, okusobola okuganyulwamu.