Bya Francis Ndugwa ne Gerald Mulindwa
Bulange Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye gavumenti eteeke essira ku by’obulamu ng’eteeka ebikozesebwa mu malwaliro wamu n’okulaba ng’abasawo n’abakugu basasulibwa bulungi, kiyambeko okukuuma abantu nga balamu.
Bino Kamalabyonna abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakulira ekibiina ekitaba abasawo ekya ‘Uganda Medical Association’ nga bakulembeddwa Pulezidenti waakyo, Dr. Dr. Richard Idro. Ensisinkano eno ebadde mu Bulange olwaleero ng’ensi yonna yeefumiitiriza ku kirwadde kya Mukenenya ku lunaku olwa ‘World Aids Day.’
Owek. Mayiga alambuludde nti tewali nsi esobola kukulaakulana okuggyako ng’esoose kufaayo ku by’obulamu byayo era ng’eno y’ensonga lwaki Beene yasalawo essira ne liteeekebwa ku by’obulamu, kiyambe okuzza Buganda ku ntikko n’okukulaakulanya Uganda.
“Abasawo basasulwe ssente ezitegeerekeka, omusawo oyinza okumuyita kumpi Katonda w’oku nsi. Ggwe obeera otya awo ng’ekikuluma tokimanyi ate omuntu omulala n’akikubuulira n’akuwa n’eddagala nowona! Ebyuma ebijjanjaba biteekebwe mu malwaliro. Endwadde eziruma bannayuganda si nzibu.” Mayiga bw’agambye.
Ku kirwadde kya Mukenenya, Kamalabyonna ategeezezza nti Uganda erina okukola kyonna ekisoboka okwegobako ekirwadde kino era n’asaba abantu okusitukiramu.
Owek. Mayiga agamba nti ekirwadde kino kifunibwa mu mbeera za butonde okuli okwegatta wamu n’okuzaala. Bw’atyo asabye abantu okukozesa obwongo basobole okwefuga.
“Nandibadde ng’ebyokwegatta biri mu butonde, naye ate tulina obwongo obutumanyisa ekituufu. Kya bulabe bwe tulemwa okwewala okwegatta okuyinza okutuleetera akabasa, ne tusiigibwa Mukenenya.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Kamalabyonna akunze abantu naddala abavubuka okugenda bakeberebwe era bwe basangibwa nga balamu beekuume. Ate abo abasangibwa n’ekirwadde batandike eddagala.
Asuubizza okukolagana n’ekibiina kino basobole okukuuma abantu ba Buganda ne Uganda nga balamu, kiyambeko okuzzaawo ekitiibwa ky’ensi yattu.
Pulezidenti w’ekibiina kino, Dr. Richard Idro, asiimye Katikkiro Mayiga olw’okubakyaza era n’amuyitira mu matabi ge balina wamu n’ebigendererwa by’ekibiina kino, okulaba nga bannayuganda bafuna obujjanjabi obulungi.
Idro asinzidde wano ne yeebaza Kabaka olw’okukkiriza okubeera omumuli oguyamba okulwanyisa Mukenenya wamu ne kaweefube Obwakabaka gwe buliko okulwanyisa ebirwadde ebirala nga Nalubiri (Sickle Cells).
Ono agambye nti balindirira eddwaliro ly’Obwakabaka eryasomebwa mu mbalirira okuyambako ku bakyala n’abaana okufuna obujjanjabi.
Ab’ekibiina kino, baliko ebirabo bye batonedde Kamalabyonna era ne beeyama okukola kyonna ekisoboka okutumbula ebyobulamu mu Buganda ne Uganda.