
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyensimbi eyanjudde embalirira y’ennyongereza ya buse 3.8 eri akakiiko ka Palamenti akakola ku mbalirira nga basaba ensimbi zino zibaweebwe emirimu gisobole okutambula.
Ku nsimbi zino kuliko ensimbi eziwerera ddala obuwumbi 26.3 okusobola okusasula Obwakabaka bwa Buganda ensimbi ze bubanja gavumenti eyaawakati ng’ezimu ku zino zaava mu nsimbi z’obupangisa.
Wabula ababaka abatuula ku kakiiko kano bategeezezza nti si bamativu n’engeri gavumenti gy’esuubira okufunamu ensimbi zino eziwera obuse 3 n’obuwumbi 800 ze baagala okusaasaanya mu mbalirira y’ennyogereza.
Okusinziira ku ministule y’ebyensimbi, obuse 2 obuwumbi 49 zigenda kwewolwa kuno ate akase 1 n’obuwumbi 298 zikecuddwa ku bitongole bya gavumenti naddala ku ntambula, enkung’aana n’obubaga.
Abamu ku babaka abatuula ku kakiiko kano okuli; Muwanga Kivumbi ne Abdul Katuntu, batabuse nga bagamba nti ebyenfuna by’eggwanga bikoseddwa nnyo Ssennyiga Corona ng’okuddira okubiggyamu obuse obuwera obubiri, kigenda kwongera okukosa eggwanga.
Ababaka bagamba nti singa ensimbi zino zeewolwa, ebbanga lya Uganda ligenda kulinnya okuva ku 52.7% okutuuka ku 54.0% .
Era mu mbalirira eno mulimu n’ensimbi endala obuwumbi 35 okuyimirizaawo ebibiina by’obufuzi ebiri mu Palamenti nga zino zaakugabanibwa okusinziira ku muwendo ekibiina gwe kirina mu Palamenti.
Embalirira eno ey’ennyongereza erimu n’ensimbi obuwumbi 67 Minisitule y’ebyenjigiriza z’esaba okuddaabiriza ekisaawe ky’e Namboole kuba kino mu kiseera kino kiri mu mbeera mbi nnyo wadde akakiiko kano tekannasisinkana bakungu ba minisitule eno kubaako bye bannyonnyola.
Wabula minisitule y’ebyensimbi ejjuludde okusaba kwa buwumbi butaaano obubadde obwokuwa abategesi b’ebivvulu abakosebwa Ssennyiga ng’egamba nti ensimbi zino zaakukusibwa bukukusibwa amaka g’omukulembeze w’eggwanga ng’olukiiko lwa baminisita terwazikkiriza.









