
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu asabye gavumenti, okumyumyula amateeka esobole okutangira omuze gw’ omukwano ogw’ebikukujju (Ebisiyaga) ogutandise okulabikira mu masomero okusobola okutaasa ebiseera by’ eggwanga eby’omu maaso.
Okusaba kuno Omuk. Luutu akukoledde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde atikkula Amakula ga Kabaka okuva mu bantu b’e Kyaddondo ku Lwokusatu.
Omuk. Luutu agambye nti ebikolwa bino bivvoola ennono n’obuwangwa bwa Buganda era nga ne Katonda abinyigira bwatyo nasaba abakulu mu gavumenti okuteekawo amateeka amakakali ku bikolwa bino basobole okuyamba eggwanga ery’enkya.

Eyakulembeddemu abantu bano, omwami wa Kabaka ow’eggombolola ya Mutuba IV Kampala Masekkati, Kawuma Male Henry ategeezezza nti babadde balina okutuukiriza ennono okulaba nga embiri z’Omutanda teziggwamu byakulya.
Omwami Kawuma agamba nti ekimu ku bitundu byatwala ekya Kisenyi kyakutte omuliro wiiki ewedde era ku kino agamba waliwo abalina ebigendererwa ebyabwe ate nebannyigiriza abalala era bano abasabye okwekuba mukifuba.
Akikiridde omwami w’essaza Kaggo, Ronald Lumunye akubirizza abantu ba Kabaka okwetanira obulimi nobulunzi nga mu kino lwebajja okweggya mu bwavu basobole okulaakulana ne Buganda esobole okudda ku ntikko.









