
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu awadde gavumenti amagezi okusala gonna okugonjoola ensonga z’abasawo awatali kuzibalaatiramu nga tebasoose kulowooza ku bulamu bwa bannayuganda.
Okwogera bino abadde atikkula amakula abantu okuva mu ggombolola ya Mutuba 8 Kasaali okuva mu ssaza Buddu.

Omuk. Luutu agamba abasawo bakola kinene nnyo okutaasa obulamu n’okuzzaamu abantu essuubi nga singa ensonga zabwe zibeera tezikwatiddwa bulungi kisobola okuteeka obulamu bwaba bannansi mu matigga.
Omuk. Luutu wano asabye abasawo nabo nga bakyalinda okuddibwamu okuva mu gavumenti ate balowooze ku bulamu bwabantu kubanga bangi basoomozebwa emu byobulamu era beetaga okufiirwako.
Ye omwami w’eggombolola eno, Kitatta Vincensio Bukenya ategeezeza nti bakola butaweera okutuusa obuweereza bwa Kabaka eri abantu era abantu ba Beene bajjumbize nnyo eri enteekateeka z’obwakabaka zonna ate bakozi.
Enteekateeka eno egendererwamu okulaba nti embiri za Ssaabasajja Kabaka tezigwamu byakulya awamu nokwongera okugatta abantu ba Kabaka.









