
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisitule y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo mu ggwanga eremeddeko ku by’okugaana abazadde okukyalira abaana baabwe olw’okutya okusaasaanya ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, omwogezi wa Minisitule eno, Dr. Dennis Mugimba agambye nti singa abazadde batandika okukyalira abaana ebituukiddwako byonna biyinza okwonooneka ng’obuzibu buvudde ku bazadde.
“Tusaba amasomero galeme kutegeka nnaku ntongole zakukyalirako baana kuba kino kisobola okuvaako ekirwadde kya COVID-19 okuddamu okukwata abaana,” Mugimba bwe yagambye.
Mugimba agamba nti bafunye amawulire ku gamu ku masomero agagenze mu maaso n’okuteekawo ennaku z’okukyalirako abaana nga beekwese mu lukung’aana lw’abazadde olwa buli mwaka wabula n’abalabula okukikomya.
Amasomero bwe gaali tegannaggulawo mu January w’omwaka guno oluvannyuma lw’emyaka ebiri ng’amasomero gaggaddwa, Minisitule y’ebyenjigiriza eriko ebiragiro bye yawa era mu byo mwe mwali okuwera okukyalira abayizi era Mugimba yakkaatirizza nti ekiragiro kino kikyaliwo.
Okusinziira ku Mugimba ensonga eno Minisitule eri mu kugyetegereza era ejja kuvaayo mu bwangu okutegeeza eggwanga ku kiddako.
Ebyemizannyo bikkiriziddwa
Mugimba yategeezezza nti amasomero gasobola okugenda maaso n’okutegeka empaka z’ebyemizannyo kuba ekkoligo eribaddewo ku nsonga eno lyaggyiddwawo.
Wabula yannyonnyodde nti empaka zino zirina okugenda mu maaso wakati nga bagoberera ebiragiro ebitangira ekirwadde kya Corona.









