Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti yaawakati egguddewo ebivvulu ebyali byawerebwa olw’okutangira Ssennyiga Corona mu mwezi gwa Gwokusatu naye nga biteereddwako ebiragiro ebikambwe.
Kino kirangiriddwa omukungu w’akakiiko akafuga ebiyiiye n’obuwangwa aka Uganda National Culture Centre, Sam Okello Kelo, leero ku Lwokusatu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala.
Obumu ku bukwakkulizo kuliko ebivvulu, Okello agamba nti birina kutegekebwa mu bifo bya wabweru.
“Abayimbi n’abategesi b’ebivvulu baweereddwa amagezi okugenda ku National Theater ebiragiro gye bitimbiddwa oba okukebera omutimbagano gwa UNCC nga tebannategeka kivvulu kyonna.” Okello bw’agambye.
Okello abalagidde okunyweza ebiragiro bino kisobole okutaasa abantu abagenda okujja mu bivvulu bino.
Ono annyonnyodde nti ensonga lwaki kitutte akaseera akawera okuggulawo ebivvulu, lwakuba nti bino bikung’aanya abantu bangi nga baali tebannafuna ngeri yaakubakuumamu.
Okusinziira ku kiwandiiko ebivvulu bino bigenda kutandika ku ssaawa emu ey’oku makya okutuuka ku ssaawa emu ey’akawungeezi era nga bigenda kukkirizibwamu abantu 200 bokka.
Abantu abalina okujja mu bivvulu balina okutuuzibwa nga beesudde amabanga era nga bambadde obukookolo era ng’abategesi b’ebivvulu balina okufuba okulaba ng’abantu bonna abayingira banaaba mu ngalo.
Bino we bijjidde ng’omuyimbi Omunigeria eyabadde akwatiddwa, Stanely Omah Didia aka Omah Lay ne munne Temilade Openiyi amanyiddwa nga Tems, baakamala okuyimbulwa olw’okukola ekivvulu ekimenya amateeka.