Gavumenti ya Uganda egambye tejja kulaangirira biseera bya kabenje ekyandiviiriddeko okwongezaayo akalulu ka 2021
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za ssemateeka n’essiga eddamuzi, Ephraim Kamuntu yaayogedde bino bwabadde asisinkanye akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’amateeka.
Ono mu kakiiko kano abadde awerekeddwako ssaabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga wamu n’abakungu okuva mu kakiiko k’ebyokulonda okunnyonnyola ku nteekateeka y’akalulu k’omwka ogujja.
Enteekateeka y’akakiiko empya yawera okukuba kampeyini olw’okwetangira ekirwadde kya coronavirus.
Okusinziira kw’akulira akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama, akalulu kaakuwenjezebwa ng’abeesimbyewo bayitira ku mitimbagano.
Abavuganya gavumenti bagamba kikafuuwe okuba n’akalulu akataliimu kampeyini.
Bano bagamba nti singa Akakiiko k’ebyokulonda tekasobola kutegeka kulonda nga bwekumanyiddwa, akalulu kw’ogerweyo.
“Akawaayiro 110 aka ssemateeka akassaawo ebiseera ebyakabenje kwogera ku ggwanga nga lirumbiddwa ate Uganda tennalumbibwa, kwogera ku butali butebenkevu muggwanga ate eggwanga liri bulungi. Singa wabaawo ebiseera bya kabenje neeno palamenti singa tetuula,” Kamuntu bweyagambye.
Ono yagambye nti Bannayuganda bamanyidde okukuba akalulu okukyusa abakulembeze era kino bwekiti bwekigenda okubeera n’omwaka ogujja.
Ate ye William Byaruhanga yagambye kyetaagisa okwogeraganya na buli muntu okusobola okufuna okukkanya ku butya eggwanga bweririna okukulemberwamu.
URN