• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Gav’t enoonya obuwumbi 630 okuwummuza Sejusa ne banne awamu nokwongeza abajaasi emisaala

Gambuuze by Gambuuze
July 13, 2022
in Amawulire
0 0
0
Gav’t enoonya obuwumbi 630 okuwummuza Sejusa ne banne awamu nokwongeza abajaasi emisaala
0
SHARES
43
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala – Kyaddondo

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde  Minisitule y’ebyensimbi okuwaayo obuwumbi 630 eza silingi za Uganda okusobola okukola enteekateeka y’okwongera abajaasi omusaala awamu n’okuwummuza abamu ku bakulu mu ggye lya UPDF nakasiima akeegasa.

Abajaasi abagenda okuwummula bawera 34 nga bano bali ku ddaala lya Genero nga mu bano mulimu  Gen David Sejusa, Gen Elly Tumwine awamu ne Lt Gen Proscovia Nalweyiso.

Abalala kuliko; Lt Gen John Mugume, Lt Gen Andrew Gutti, Maj Gen Stephen Kashaka, Maj Gen Phinehas Katirima, Maj Gen Elly Kayanja, Maj Gen Michael Ondoga, Maj Gen Gavas Mugyenyi,  Brig Stephen Kwiringira awamu n’abalala.

Kino kiddiridde olukiiko olukulu olw’ amagye okutuula nga lukubirizibwa omuduumizi ow’okuntikko era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nebakkaanya okusiibula abamu ku bajaasi n’okulinyisa omusaala nga batandikira ku bakulu kuba ennamba yabwe ntono.

Ensonda mu magye zigamba nti Pulezidenti Museveni yannyonnyodde nti bagenero bano baweereza eggwanga okumala akaseera nga beetaaga okusiibulwa obulungi kuba webagira mu buyinza eggwanga teryalina ssente era babadde babeerawo ku busente butono n’omwoyo gwe ggwanga lyabwe.

“ Bano batono nnyo, era baweereza eggwanga lyabwe akadde konna, tewali nsonga lwaki tetubasiibula bulungi,”  Museveni bw’agambibwa okutegeeza.

Okusinziira ku byavudde mu lukiiko abajaasi bagenda kwongezebwa ebitundu 100 ku 100 nga kati Genero ajja kuba afuna omusaala gwa bukadde 15 ate Brigadier afune obukadde 10.

Omwogezi w’amagye, Brig. Felix Kulayigye yayise mu kiwandiiko ku Lwokubiri nakakasa nti beetaaga obuwumbi 630 okusobola okuggusa enteekateeka zino.

Brig Kulayigye agamba nti bataddewo akakiiko okuva mu Minisitule y’ebyokwerinda nga kakulirwa Omuwandiisi ow’enkalakalira naba Minisitule y’abakozi okutunula mu  nsimbi ezirina okwongera ku musaala gw’ abajaasi.

“Olukiiko lwasemba eky’okwongera abajaasi omusaala n’ebitundu 100 ku 100 nga lutandika n’abajaasi abakulu kuba bano batono era baluddewo nga baweereza era abamu ku bano bagenda kuwummula mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwa 2022/2023,” Kulayigye bwe yagasseeko.

Ono alaze nti beetaaga obuwumbi 517.9 okukola ku kwongeza omusaala  ate obwumbi 116.8 kusiibula abakulu abagenda okuwummula nga mu mwaka guno gwonna beetaaga obuwumbi 634.8 okuggusa enteekateeka y’okwongeza abajaasi omusaala n’okuwummuza abanene.

Kulayigye yalambise nti enteekateeka eno eyinza okubaawo omwaka gw’ebyensimbi okujja kuba embalirira y’omwaka guno yamala dda okuyisibwa ng’enteekateeka eno teriimu.

Ono era yakakasizza nga abajaasi bonna abali ku ddaala lya Kapiteeni ababadde basuubirwa okuwummula bwebayimiriddwa okutuuka nga enteekateeka eno eteekeddwa mu nkola mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2023/2024.

Kulayigye agamba nti era singa ensimbi ezirina okusiibula  abakulu abayogeddwako waggulu zinaabula bajja kwongerayo enteekateeka eno okutuusa omwaka ogujja.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Brig Stephen KwiringiraGen elly TumwineGen. David SejusaLt Gen Andrew GuttiLt Gen Proscovia NalweyisoMaj Gen Elly KayanjaMaj Gen Gavas MugyenyiMaj Gen Michael OndogaMaj Gen Phinehas KatirimaMaj Gen Stephen KashakaUpdf
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.