Bya Ssemakula John
Pulezidentu Adama Barrow alayiziddwa ku bukulembeze bw’eggwanga lya Gambia oluvannyuma lw’okuwangula omusango gw’ebyokulonda ogwali gumuloopeddwa mu kkooti ensukkulumu ey’eggwanga eryo.
Barrow kati atandise ekisanja kye ekyokubiri nga Pulezidenti w’eggwanga lino nga byonna abifunye ayita mu kalulu era obutambi busaasaanidde omutimbagano nga bulaga omukulu ono ng’akuba ebirayiro okunyweza Ssemateeka n’okukulembera obulungi abantu be.
Kino kiddiridde kkooti ensukkulumu okugoba omusango ogwatwalibwayo ekibiina ekivuganya ekya United Democratic Party (UDP) nga bawakanya ebyava mu kalulu akaakubwa nga Desemba 4 akalaga nti Barrow yawangula n’ebitundu 53 ku buli 100.
Aba UDP kino baakiwakanya nga bagamba nti vvulugu eyalabikira mu kulonda kuno yali y’aludde okulabikako nga tekali kaamazima na bwenkanya nga Ssemateeka bw’agamba.
Ku Mmande ya wiiki eno, kkooti ensukkulumu yagoba omusango ng’egamba nti obujulizi obwali buleeteddwa bwali bunafu.
Kinajjukirwa nti Barrow nga tannayingira byabufuzi yalina bbizinensi z’ebyettaka era yaliko ng’omukuumi owa Securiko mu kibuga London ekya Bungereza wabula yeewuunyisa ensi bwe yeesimbawo mu 2017 n’awangula Pulezidenti eyaliko Yahya Jammeh mu kalulu ak’ebyafaayo.