
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Frank Gashumba akiise embuga neyeetondera Katikkiro Charles Peter Mayiga era naamusaba amusonyiwe kwebyo ebyaliwo era akkirize enkolagana eddewo .
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande, era wano Kamalabyonna Mayiga asabye abantu bulijjo okwegendereza ebigambo byeboogera kubanga bino tebiggwaawo.
Katikkiro Mayiga akkiriza okwetonda kwa Gashumba era nakkiriza enkolagana eddewo.
Kamalabyonna ategeezezza nti Frank Gashumba amumanyidde ebbanga era baali bakolagana naye mu myaka egiyise yatandika okumwogerako ebikankana naye teyamuddamu kubanga ebibye byonna byakola bibeera mu musana.
“Ebigambo bisobola okubeera eby’omutawaana okusinga ettutumu oba ensimbi, n’olwekyo oli bwasalawo okutereeza embeera kibeera kirungi ku lulwe kubanga nze Gashumba mulabanga omuganda,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Kamalabyonna Mayiga agambye nti okwetonda kya buntubulamu era Gashumba ensi ejja kutandika okumulabira mu bbala eddala.
Ono amusabye akomye okwogerera n’abantu abalala era bw’abaako byeyagala ayogere ebyo ebigasa era byalinako obujulizi.
Frank Gashumba ategeezezza nti obumulumulu bwebwaliwo Abasumba okuli eyali Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga, Omusumba Serverus Jjumba ne Jude Mbabaali.
“Nkusaba enkolagana gyetwalina egende mu maaso, nebigambo byetwakozesa nga si birungi, olumu kitulinnya n’otunula nogamba nti vidiyo eno yali nze oba yali muntu mulala. Naye omuntu omugunjufu bw’okola ensobi olina okwetonda era kyekindeese wano, ” Frank Gashumba bw’annyonnyodde.

Amwebazizza olw’okulwanirira Nnamulondo ne Ssaabasajja Kabaka mukiseera weyabeerera omulwadde nga abantu bamubanja.
Gashumba yeebazizza Kamalabyonna olw’okutumbula ekirime ky’ emmwaanyi naakakasa nga ekirime kino bwekitumbudde ebyenfuna bya Bannabuddu nakunga n’abantu okulima yiika lwakiri 2 wamu n’ekisolo ekibayamba okuliisa ettaka.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita Noah Kiyimba, Minisita Israel Kazibwe Kitooke, akulira entambuza y’emirimu ku Terefayina, Steven Dunstan Busuulwa n’abakungu abalala.