Bya Musasi Waffe
Masaka
Omuwaabi wa gavumenti e Masaka aggye omusango gw’obutemu ku bwannamukulu w’ekigo ky’e Bisanje, Rev Fr. Richard Mugisha ogwali gumuteekeddwako poliisi gyebuvuddeko.
Kino kyaddirira, omuvubuka Kyeyune Ronald okukwatibwa ng’abba emmotoka ya Fr. Mugisha wabula abatuuze ne bamuzinduukiriza era ne bamukuba mizibu. Wabula Fr. Mugisha yayita poliisi okujja etaase omuvubuka ono ku batuuze.
Ebyembi omuvubuka ono Kyeyune yafiira mu kaduukulu ka poliisi e Masaka era ennaku ezaddirira poliisi n’eyita Fr. Mugisha okweyanjula gy’eri era n’aggulwako omusango gw’obutemu nga kigambibwa nti yeekobaana n’akulira eby’okwerinda ku kyalo Bisanje, Joseph Mutayombwa okuzza omusango guno.
Wabula abantu ab’enjawulo baavaayo ne bategeeza nga Fr. Mugisha bwe yali agenda okuvunaanibwa olw’obuwagizi bwe yalaga eri oludda oluvuganya nga tugenda mu kalulu ka 2021, bwe yavaayo mu lujjudde n’asaba abantu okuwagira ekibiina kya National Unity Platform (NUP) wadde poliisi bino yabiwakanya.
Olwaleero ku Lwokubiri, munnamateeka wa Rev. Fr. Richard Mugisha nga ye Alexander Lule owa Xander and Co. Advocates, ategeezezza nti Fr. Mugisha eyali yaggulwako omusango gw’okutta omuntu, gumuggyiddwako.
Okusinziira ku munnamateeka Alexander Lule kino omuwaabi wa gavumenti akikoze oluvannyuma lw’okukizuula nti obujulizi obwaleetebwa tebusobola kumatiza mulamuzi.
Bo bakristu mu kigo ky’e Bisanje beebazizza Katonda olw’okwanika amazima kuba Ffaaza Mugisha abadde alangibwa bwemage.