Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abatuuze b’e Ssembabule basattira oluvannyuma lw’omugagga Nabasha Gwaju eyagula ettaka, okubazibira ekkubo erigatta Disitulikiti y’e Ssembabule ku Mubende ng’agamba nti ekkubo lino liyita mu ttaka lye.

Abatuuze bagamba nti okuva edda nga bakozesa ekkubo lino naye beewuunyizza okulaba ng’omugagga aliziba, bano bagamba ngti baagezezzaako okuwakkanya omugagga ono, ekyaviirako ne munnaabwe okufiira mu nkaayana zino, era nebaddukira mu kkooti enkulu e Masaka ebayambe.
Kino kireetedde omuwandiisi wa kkooti enkulu e Masaka, Nkonge Agness, okulambula ettaka era n’atuuza enjuyi zombi okulaba ng’agonjoola obuzibu buno.
Mu lukiiko luno mwabaddemu enjuyi zombi, abakulembeze ab’enjawulo okuli; n’Omubaka wa Lwemiyaga mu Palamenti, Theodore Ssekikubo.
Wabula Nabasha alumiriza nti bwe yali agula ettaka lino ku Muhammad era nga liwerako yiika 11, nti n’ekkubo yalimugulizaamu era bw’atyo n’alisibako ffaamu.
Kino Munnamateeka wa Nabasha, Nuwe Nowe Ojooko naye yakikakasizza n’ategeeza nti abatuuze ekkubo baliteekawo mu bukyamu nga tebaasooka kusaba nnannyini ttaka.
Ekkubo lino ligatta ebyalo okuli Meerumeeru, Lyentuha ne Kitokolo nga byonna bisangibwa mu ggombolola y’e Lwemiyaga.
Abatuuze nga bakulembeddwa Ssentebe w’omuluka Kanoni, Lubyayi Charles, baategeezezza nti okuva edda ekkubo lino lye bakozesa okutambuza ebyamaguzi n’ebirime byabwe n’okugenda mu malwaliro.
Lubyayi yannyonnyodde nti okuva Nabasha bwe yazingako ettaka lino n’aliteekako ffaamu, basajja be tebakkiriza muntu yenna kugendayo wadde okulondamu oluku oba okukimamu amazzi, ate nga mwe muli oluzzi lwabwe.
Yagasseeko nga bwe baatuuka n’okwesondamu ssente eziwera obukadde busatu nebaleeta ttulakita okulima ekkubo lino naye omugagga Nabasha n’akozesa poliisi nabalemesa. Basabye gavumenti eveeyo ebayambe nti kuba mu bali bubi mu kiseera kino.
Omuwandiisi wa kkooti Nkonge bano yabasabye basisinkane mu kkooti nga 21/10/2020 bakkiriziganye nga kino bwekinaagana, kkooti ejja kuba esalawo ekyenkomeredde.








