
Bya Ronald Mukasa
Kampala – Kyaddondo
Kkooti ya Buganda Road ezizza omuvubuka Ibrahim Musana eyeeyita Pressure 24/7 ku alimanda e Luzira okutuusa nga 15 omwezi guno kkooti lwegenda okuwulira okusaba kwe okw’okweyimirirwa.
Musana yasimbibwa mu mbuga z’amateeka nga 23 ogw’okubiri (February) naggulwako ogwokusiiga obukyaayi ssaako nokulebula abakulu nasindikibwa ku alimanda e Luzira oluvannyuma lw’abamweyimirira obutaba na bisaanyizo bimala.
Ono olwaleero asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi mu kkooti ya Buganda Road, naddamu okusomerwa emisango egimuvunaanibwa.
Ng’ayita mu bannamateekaabe basatu okuli Kakuru ne Kato Tumusiime, asabye okweyimirirwa, era aleese abamweyimirira babiri okuli mwannyina Brenda Namboozo ne mukwano gwe, Ibrahim Ssembatya.

Bannamateeka ba Musana bategeezezza omulamuzi wa kkooti eno nti omuntu waabwe mutuuze wa Church Zzooni e Najjanankumbi mu Kampala era nga n’ebbaluwa ya ssentebe w’ekitundu emwogerako ng’omutuuze assa ekitiibwa mu mateeka.
Wabula ono tasobodde kweyimirirwa oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka okusaba kkooti ebbanga lya sabbiiti nnamba okwekeneenya ebiwandiiko byabamweyimirira.
Omulamuzi Kayizzi alagidde Musana azzibweyo ku alimanda e Luzira okutuusa nga 15 omwezi guno kkooti lwenaawa ensala yaayo ku kusaba kwe kuno.
Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa August 2023 ne February 2024, mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, Ibrahim Musana nga akozesa omutimbagano ku akawunta ye eya Tiktok yayisa olugaayu mu Nnamulondo bweyavoola Ssaabassajja Kabaka, omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, omukubiriza wa Paalamenti Annet Annita Among ne Minisita omubeezi owa tekinologiya mu gavumenti ya wakati hon. Joyce Nabbosa Ssebugwawo.
Ssentebe w’ Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo, asinzidde ku kkooti neyeebaza abavubuka b’Obwakabaka abaabukeerezza enkokola okweyiwa ku kkooti nga bambadde engoye z’ennono nga ekanzu, busuuti nembugo okulaga obumu mu kunyolwa eri abavvoola Nnamulondo.
Ssejjengo agamba nti ekikolwa kino kyongedde okulaga abavvoola Kabaka nti sibakugumiikirizibwa n’asaba kkooti okugoberera ennambika y’amateeka ng’ewulira okusaba kwa Musana okweyimirirwa okusobola okuwa Obuganda n’abantu abalala abavvoolebwa obwenkanya.
Ssejjengo era akunze abavubuka ba Buganda okujja mu bungi nga 15 okubeerawo mu kkooti ng’ewulira okusaba kwa Musana okw’okweyimirirwa.









