Bya Ssemakula John
Kampala
Eyavuganyako ku ntebe y’ Obwapulezidenti Joseph Kabuleta aliira ku nsiko nga kigambibwa nti ono anoonyezebwa ab’Amagye abakolera mukitongole ki ‘Chieftaincy of Military Intelligence (CMI)’ nga bano bazinzeeko ekitebe ky’ekisinde kyakulira ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED) ku Lwokusatu wabula nebatamusangayo.
Abantu ku bantu abasangiddwa ku woofiisi z’ekisinde kino ezisangibwa e Bugoloobi mu Kampala, nga bano bagamba nti woofiisi zabwe bazaazizza era nebatandika okubabuuza kalonda abakwatako era okukakkana nga batutte essimu ya Kabuleta gyabadde akolerako emirimu gya woofiisi.
Kigambibwa nti ebimu ku binoonyesa Kabuleta kwekwambalira gavumenti ku ngeri gyekuttemu eby’okwerinda e Karamoja, obusosoze awamu n’okugema abaana b’eggwanga ekirwadde ki Ssennyiga Corona nga bino tebyawomera bakulu mu gavumenti.
“ Abasajja mu ngoye ezabulijjo ababadde batambulira mu mmotoka ya Drone bazinzeeko ekitebe kyaffe e Bugoloobi, tebakkirizaamu muntu yenna kebabeere abamawulire. Ku ssaawa eno tetumanyi kigenda mu maaso,” Chaka Jeje, omu ku bakozi b’ekisinde kino bwe yategeezezza.
Kigambibwa nti bano oluvannyuma lw’okubulwa Kabuleta, bamaliriza bakutte munnamawulire Denis Ntege gwebasanze mu kifo kino nga tekimanyiddwa wa gyatwaliddwa.
Kaweefube waffe okwogerako ne Kabuleta ku nsonga eno agudde butaka olw’essimu ze ezimanyiddwa okubeera nga teziriiko.