![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/10/Mowzey-Radio.jpg)
Musasi waffe
Godfrey Troy Wamala eyasingisibwa omusango gw’okutta omuyimbi Mowzey Radio mu 2018, asindikiddwa e Luzira amaleyo emyaka 14. Omulamuzi Jane Abodo yagambye nti bweyekennenyezza obujulizi yakizudde nti Wamala teyagenderera kutta Mowzey n’lowekyo okumusiba amayisa oba okumuwanika kalabba kyandibadde kisukulumye kumusango gweyakola. Kumyaka 14 gyeyakaliggiddwa, Wamala wakumalayo emyaka 12 n’emyezi esatu, oluvanyuma lw’okumala ku alimanda e Luzira omwaka gumu n’emyezi munaana. Mowzey Radio ng’amannyage amatuufu ye Moses Ssekibugo yafa oluvanyuma lw’okukubwa bweyali agenze mu baala ya De Bar Entebbe gyeyali agenze okunywamu nebanne.