Bya Musasi Waffe
Gulu
Poliisi etandise okunoonyereza ku ngeri omusajja eyalemereddwa okusasula nnusu 1000 zeyabadde aguzeemu Rolex gyeyattiddwamu.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga agamba nti bino byabadde Gulu mu East Divizoni ab’omukwano gyebalwanidde ng’entabwe eva ku kusasula Rolex.
“Byabaddewo ng’omu ku batuuze amanyiddwa nga Odong Nyige nga awangaalira Karom Cell mu Pece – Laroo e Gulu bweyalagidde bamusiikire Rolex ya 1000 okuva ku madaala gwa Emmy ogwa Chapati. Oluvannyuma lw’okulya yagaanye okusasula olwo nebatandika okulwanagana,” Enanga bw’ategeezezza bannamawulire ku kitebe kya Poliisi ku Mmande.
Wakati nga balwana nannyini mudaala gwa Chapati eyategerekeseeko erya Immy yafumise Odong akambe keyabadde akutte namutta.
Okusinziira ku poliisi, oluvannyuma lw’okukola ettemu lino Emmy yadduse era kati aliira ku nsiko.
“Tutandise okumunoonya. Tosobola kutta muntu lwa Chapati ya nnusu 1000, obutakkanya ekika kino tebulina kutwaliramu bulamu bwa muntu,” Enanga bw’agasseeko.