Bya Shafic Miiro ne Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu Ebyenjigiriza ,Ebyobulamu ne woofisi ya Nnaabagereka, Owek.Cotilda Nakate Kikomeko alabudde abakulira amatendekero n’amasomero g’Obwakabaka okwerinda ebisoomozo nebibamba mu buweereza bwabwe.
Minisita bino abyogeredde ku ttendekero ly’Obwakabaka li Buganda Royal Institute and Technical Education abadde Ssenkulu walyo, Owek. Anthony Wamala bw’abadde awaayo woofiisi eri Ssenkulu omuggya, Joseph Balikuddembe e Kakeeka Mmengo ku Mmande.
Owek. Kikomeko ategeezezza nti ebizibu n’ebisomoozo birina okubaawo mu mirimu naye singa bino bisanga nga banywevu entambuza y’emirimu tesobola kusanyalala.
Minisita Nakate era yeebaziza Owek. Anthoy Wamala olwamaanyi n’obumalirivu bwataddemu wabeeredde Ssenkulu w’ettendekero lino naasobola okusitula omutindo gw’ ebyenjigiriza mu Buganda.
Ono akubiriza abaddukanya ettendekero lino okusika ku mukono amatendekero g’Obwakabaka amalala nago okusituka olwo ebyenjigiriza mu Buganda byongere okuyitimuka
Ye Owek. Anthony Wamala bw’abadde awaayo woofiisi annyonnyodde nti obumu n’okukolaganira awamu byebimu ku bimuyambye okutuusa Buganda Royal ku mutindo era yeebaziza abakulembeze n’abaweereza bonna babadde akola nabo okuva lweyakwasibwa obuvunannyizibwa bwokulikulembera emyaka 15 egiyise.
Owek. Wamala awadde amagezi Ssenkulu omuggya okusembeza abayizi nabaweereza bw’aba ayagala okugussa omulimu.
Ssenkulu Omugya Omuk. Joseph Ssenkusu Balikuddembe yeebaziza Ssaabasajja olwokumuwa obuvunannyizibwa buno era nawera okukola namaanyi okutwala omulimu guno mu maaso.
Okusooka Ssentebe wa Bboodi ekulembera ettendekero lino Mw. Mulindwa Kasozi yasoose kwanjula ebiyitiddwamu okulonda Ssenkulu omuggya.
Mw. Mulindwa yakakasizza nti Bboodi yasalawo omukisa ogusooka eguwe abakozi abaliwo era wano abakozi basatu baasaba nga kuno kwekuli; Mw. Ssekuwanda Henry, Oweek. Balikuddembe Joseph ne Mw. Kaggwa Apollo.
Bano baasunsulibwa okusinziira ku bukwakkulizo obwateekebwawo era babiri okuli Mw. Ssekuwanda Henry ne Oweek. Balikuddembe Joseph nebayitamu era bwatyo Owek. Balikuddembe naasobola okulya empanga.