Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza, ebyobulamu n’embeera z’abantu Owek, Prosperous Nankindu Kavuma atongozza bboodi empya egenda okuddukanya essomero lya Nnaabagereka Primary School erisangibwa mu Lubiri e Mmengo.

Bboodi eno erondeddwa egenda kukulirwa Ssaalongo John Kaye namyukibwa Jane Francis Nakato.
Abalala abali ku kakiiko kano kuliko; Dr. Rebecca Nambi, Owek Viola Kiwuka, Muky. Teddy Nagawa, Ssewava Robert,Twaha Mukasa ne Hajjati Saudah Kasawuli.
Bweyabadde atongozza olukiiko luno, Owek. Nankindu yasabye abasomesa okubeera abayiiya era abatetenkanya bayimirizeewo ebyenjigiriza naddala mukaseera kano ng’ekirwadde kya sennyiga Corona kitabudde buli kimu.
Owek. Nankindu olukiiko olupya alusabye okukola ebyo ebibasuubirwamu.
“Byonna byetukola Beene abifuna, abiwulira ate abiraba era kabinenti egenze okulonda amannya gammwe nga gasunsuddwa bulungi era nga tumanyi bulungi obusobozi n’empereza yammwe,” Minisita Nankindu bwe yagambye.
Ssentebe w’olukiiko olupya Ssalongo John Kaye yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumulengera era neyeyama okukola buli ekisoboka okusitula omutindo gwe ssomero lino.
“Mbasaba tuweereze n’amaanyi tuleme kuswaaza kabaka era neyama mu maaso ga minisita nti nja kuweereza n’amaanyi” Kaye bwe yagambye.
Essomero lino erya Lubiri Nabagereka Primary School lya Bwakabaka bwa Buganda era nga lyatandikibwa mu myaka gya 1940 okutuusa ebyenjigiriza eby’omutindo ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka.