
Bya Gerald Mulindwa
Lumbugu – Kooki
Abantu ba Kabaka abawangaalira mu ssaza Kooki bafunye ekifo webanaaddukanyiza emirimu gya Kabaka.
Ekifo kino kiweereddwayo omubaka mu Lukiiko lwa Buganda era omumyuka owookubiri ow’omukwanaganya we Ssaza Kooki, Oweek Mw. George William Kasumba Ddumba era kyakukozesebwa okutuusa nga Gavumenti ya wakati eddizza obwakabaka ebintu byayo okuli embuga ye Ssaza Kooki.
Omukwanaganya we Ssaza Kooki Muky. Gertrude Ssebuggwawo, agamba nti Kooki bakozesa eng’ombo y’okukozesa ebikolwa ssi bigambo era tebakaaba bisomoozo wabula babyegonjoolera nga kino kye kibayambye okufuna e kakkalabizo lino.

Bw’abadde aggulawo yafeesi zino ezisangibwa e Lumbugu, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki agambye nti abantu abeenyigira mu nkola bweti kijjayo enjogera ya omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Ategeezezza nti Nnyinimu nga yakadda, waliwo basajjabe abaamuwa yafeesi atuulemu, naye kati ali mu mbiri ze alamula obuganda.
Owek. Kawuki abasabye baleme kukyamuukirira olwabo aboogera ebingi kyokka nga tebalina muwendo gwebongera ku mugendo era abo babatwale nga missed call.

Akulisizza abe Kooki okutuuka ku buwanguzi buno obwokufuna entabiro yabwe.
Ono yeebazizza Mw. George William Kasumba olw’omwoyo omulungi ye ne mukyala we ne bawayo Amakula eri Beene ag’ekakkalabizo.
Asabye Abaami ba Kabaka beyambise woofiisi zino okuddukanyizaamu emirimu gyabwe batuuse obuweereza eri abantu ba Kabaka.
Abasabye bakuume ekifo kino nga kiyonjo kijjeyo bulungi ekitiibwa kya Buganda.