Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Abebyokwerinda olwa leero bakedde mu Lubiri e Mmengo okwekebejja embeera yonna n’okukakasa eggwanga ng’ebyokwerinda bwebinywezeddwa okusobozesa Omwoleso Gaggadde ogutandika ku Lwokutaano luno okutambula obulungi.
Omuteesiteesi w’Omwoleso guno, Lubuulwa Moses owa LUBA EVENTS alaze enteekateeka wezituuse era nakoowola abantu okuva mu bitundu bye ggwanga lyonna okugwetanira kuba bakufunamu nnyo.
Lubuulwa agamba nti omwoleso guno gugendereddwamu okukyusa bulamu bw’abantu kubanga muno bakusangamu byonna bye beetaga mu bulamu obwabulijjo, ono ategeezeza ng’okuyingira mu mwoleso guno abaana bwebagenda okusasula 3000 zokka songa abantu abakulu bakusasula 10000 gwoka.
Omwoleso guno gwakuyindira ennaku 10 era nga Kamalabyonna Charles Peter Mayiga wakugugulawo mubutongole ku Bbalaza ya sabiiti ejja nga 18.
Atwala Poliisi ya Old Kampala, Twala Peter agumiza Obuganda ku by’okwerinda mu Lubiri awagenda okubeera omwoleso guno, nakinogaanya nti bakukolera wamu nebitongole byeby’okwerinda ebirala okuli UPDF okuwa aboleesi nabantu abalala obukuumi.
Afande Twala alabudde abantu obutajja mu Lubiri nakitereke kyonna saako n’ekintu kyonna eky’ obulabe kubanga bakubeerawo bulindaala okwambalagana n’ embeera yonna.