
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku bavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ategeezezza nti enteekateeka zonna ekikwatagana ku mupiira ogugenda okuggulawo empaka z’Amasaza eza 2021, ziwedde.
“Njagala okutegeeza Obuganda bwonna awamu ne bannabyamizannyo nti enteekateeka zonna eziggulawo emipiira gy’Amasaza 2021, ffe nga abateesiteesi tumaze okuziggyako engalo.” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Bino Owek. Ssekabembe abitegeezezza bannamawulire enkya ya leero ku Lwokutaano mu Bulange e Mmengo.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, olw’okuba omupiira gwakusambibwa mu kiseera kya muggalo, abo bokka abayitiddwa ne baweebwa ebbaluwa be bagenda okwanirizibwa ku ssaawa 7 era batuuzibwe mu bifo byabwe.
Ate ku ssaawa 8 zennyini Katikkiro Charles Peter Mayiga ajja kutuuka era ayanirize Beene ku ssaawa 8 n’ekitundu, olwo ku ssaawa 9 omupiira wakati wa Gomba ne Kyaddondo gutandike ku kisaawe kya Fufa Techincal Centre e Njeru.
Owek. Ssekabembe asabye abayitiddwa okukuuma ebiseera era bakuume emirembe era omupiira guno gugenda kuweerezebwa butereevu ku CBS ne BBS Terefayina.
Ssentebe wa ttiimu y’essaza ly’e Gomba, Kabugo Mansur ategeezezza nti alina essuubi okukola ebyafaayo mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka era asuubira nti ku mulundi guno Kyaddondo terina w’egenda kubayita.
Ate ye akulira ttiimu ya Kyaddondo, Charles Kisekka agamba nti bamukisa okuba nti be bagenda okuggulawo empaka z’omwaka guno mu maaso ga Beene nga kijja kuba kizibu essaza lye okuwangulwa kuba balina ebitone ebipya.









