Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Enteekateeka y’Entanda ya Buganda eyongeddwamu ebirungo nga kati abaana abato nabo baweereddwa omukisa okwolesa obukugu mu nnimi awamu n’obuwangwa nga bankontana era omuwanguzi asitukire mu kirabo gaggadde ng’eno emanyiddwa nga Entanda Ttoto.
Kino kibikuddwa Ssenkulu wa CBS, Omuk. Micheal Kawooya Mwebe mu bimuli bya Bulange bwabadde akwasa ebirabo abakontannyi abawanduka mu Ntanda ya Buganda y’omwaka guno okubakulisa vvaawo mpitewo n’okubasiima.
Okuva Entanda lweyatandika ku ntandikwa y’omwezi guno n’ Abakontannyi 60 wosomera bino nga basigadde 6 bokka nga bano bebagenda okukontana mu mpaka ezakamalirizo ezigenda okuyindira mu Lubiri e Mmengo nga 31 omwezi guno okulondako omuwanguzi.
Abakontannyi 48 abaawanduka my mpaka zino ku mitendera egyasooka bakwasiddwa ebirabo ebyenjawulo okubadde emifaliso nebirala nga akabonero ak’okubeebaza okwetaba mu mpaka zino nokwolesa obuvumu.
Omuk. Kawooya Mwebe annyonnyodde nti entanda yatandikibwawo nekigendererwa ekyokuddamu okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu bantu naddala abavubuka nga okuviira ddala mu 2003 lweyatongozebwa okutuusa kati ebibala byaayo birabika.
Akulira ebigenda ku mpewo ku CBS, Abbey Mukiibi agamba nti buli mwaka Entanda eyongera eyongerako omutindo nokutinta era neyebaza abakulu mu CBS olwamaanyi n’amagezi gebasaamu agagitadde ku mutindo.
Bbo abavujirizi bempaka zino okuli Home connect Properties, Samona , kyelimz General Hard ware n’abalala beebaziza CBS okubawa omukisa nabo okubaako ettofaali lye bagatta ku kutumbula embeera z’abantu nga bayita mu Ntanda ya Buganda.
Empaka z’ Entanda ya Buganda zibaawo buli mwaka era gegamu ku makubo agatondebwawo okuzza ennono , nobuwangwa mu bantu kwosa n’okutumbula Buganda.