Minisita Israel Kazibwe Kitooke aliko entanda gy’asibiridde abakulembeze bw’abadde atikkula oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 56 okuva mu bantu ba Kabaka abakiise Embuga.

Abakiise Embuga bavudde mu masaza; Busujju, Kyaggwe, Bugerere ne Kyaddondo- eggombolola Mumyuka Kamengo, Mut. VII Kawolo, Mumyuka Maanyi, Ssaabaddu Malangala, Ssaabawaali Butayunja, Ssaabagabo Kakindu ne Ssaabagabo Lufuka.
Minisita Kazibwe mu bubaka bwe asoose n’ategeeza nti Katikkiro agumizza Obuganda nti omuntu yenna asobola okuweereza Ssaabasajja Kabaka n’amala n’awerezaa mu woofiisi endala okugeza nga okuwereza mu gavumenti eyawakati oba mu byobufuzi. Bino abyesigamiza ku Owek. Sarah Nannono Kaweesi eyaweereddwa obuvunaanyizibwa mu Gavumenti ya wakati era nga mu kiseera kino entebe ya Kayima gye yabaddemu ekuumibwa abadde Omumyuka we Hajj Hassan Kasujja Kagga.
Owek. Kazibwe alambise ensonga 9 omukulembeze yenna z’alina okwekwata okutuusa obuweereza obulungi ku bantu; Okukwata ebiseera Obwesimbu, Obwetowaze, Okuwuliriza b’okulembera, Okubaako gy’otunudde, Okubeera n’ekiruubirirwa, Obukozi omutali kweganya, Obumanyi, Okutegeera ebikwata ku b’okulembera naddala ebibasomooza.
Minisita Kazibwe agamba nti omukulembeze yenna bwe yekwata ennyingo zino kimuyamba okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe eri abo b’akulembera. Avumiridde abakulembeze abasikaŋŋana ebitoji n’akubiriza abantu bonna okwewa ekitiibwa ekibajaamu okugeza nga obutalwanira ntebe ku mikolo, obutagujubanira bitiibwa n’ebirala.

“Omukulembeze alina okwewa ekitiibwa ate n’okufuba okubeera omumanyi ku nsonga ez’enjawulo okwewala okuwubisibwa ku nsonga yonna, bino bimuyamba okutuusa obuweereza obulungi eri b’akulembera” Minisita Kazibwe.
Ye Minisita Choltilda Nakate Kikomeko akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, yebazizza Bannabusujju banne okukiika Embuga mu bungi n’olwokuwagira enteekateeka z’Obwakabaka. Abakubirizza okufaayo ennyo ku baana n’addala nga babakugira okuwanduka mu masomero, okubeewaza ebiragalalagala, embuto nga bakyasoma n’ebirala.
Ye Omwami w’Essaza Busujju, Kasujju Owek. Israel Lubega Maaso nga y’akulembeddemu abakiise Embuga leero yebazizza Katikkiro olw’okulambulanga abantu ba Kabaka mu masaza ag’enjawulo n’obubaka bw’abatuusaako bw’agambye nti buyambye okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka.
“Katikkiro bwe yalambula Bannabusujju mu nteekateeka ya Emmwanyi Terimba yasaba abantu okufuba okulaba nga abaana basomera mu ngato, abaana bonna abazze okuyimba wano bazze bambadde engato nga mulimu ne sookisi njeru” Owek. Maaso.
Owek. Maaso era yebazizza okulungamizibwa okuva ewa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu kw’agambye nti kuyambye Bannabusujju okusituka omuli n’okukwata ekifo ejy’omunaana mu nkola y’emirimu mu Masaza.
Abaami b’eggombola banjudde alipoota zaabwe ne baloopa n’ebisoomozo eby’enjawulo bye bagambye nti balwana okubivvuunuka naddala eky’okuba nti waliwo Embuga n’eggombolola ezikyaganiddemu aba Gavumenti ya wakati.
Oluwalo lwetabiddwamu abaana b’amasomero abaweereddwa omukisa okwolesa ebitone byabwe mu kuyimba, okuzina, n’okutontoma.










