Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Abagenze mu mwoleso gwa Buganda Gaggadde leero bavuddeyo bavulubanye essanyu olwa abamu okufuna omukisa nebatambulirako mu nnyonyi eyaleeteddwa ng’ekimu ku by’okwolesa.
Wadde omwoleso guno gumaze ennaku 6, nga guyindira mu Lubiri e Mmengo, leero bangi basigadde bamwenyamwenya era obwedda buli lwesituka okutawuka e bbanga abalina amasimu gaseereza nga bakwata obutambi .
Omu ku bazze mu mwoleso guno, Falasca Nazziwa ow’emyaka 82 agamba nti afunye omukisa ogutabangawo oluvannyuma lwa muzzukulu we JohnBosco Lukyamuzi okumusasulira nebamuvugako mu nnyonyi.
Omulambuzi omukulu ow’olunaku era Ssenkulu wa Ssuubiryo Zambogo SACCO Benon Kivumbi akunze bannayuganda okweyuna omwoleso guno bayige engeri gyebasobola okwegobako yobwavu.
Abamu ku booleseza beebaziza Ssaabasajja olw’enteekateka zasaawo okutumbula embeera zabantu nga omwoleso guno .