
Minisita omubeezi ow’Ebyenjigiriza ebyawaggulu mu Uganda Hon. Dr. J.C Muyingo agguddewo mu butongole essomero ‘Stena Junior School’ erisangibwa e Lukuli mu ggombolola Makindye Mut. III nga lino lyatandikibwawo Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ne Mukyala we Omugenzi kati Dr. Florence Bwanika.

Owek. Muyingo asinzidde wano n’awera okulwanyisa ennyambala embi esusse mu Ggwanga ng’atandikira mu masomero. Ono agamba nti ensangi zino amasomero gatuuse n’okuteeka obupande obukoma ku miryango ku bazadde okwambala obubi, akamu ku bobonero obulaga nti omuze guyitiridde. Ayongeddeko nti ne mu baana n’abasomesa mu masomero agamu osanga bu ‘uniform’ obukunikidde ekiraga ekifaananyi ekibi.
“Empisa zaffe ennungi abantu bazivasko dda, osanga abantu agenda kukyalira baana ku ssomero naye ng’olugoye lw’ayambadde lwesittaza ekisembayo, mu nsabire ngenda kutandika oluwalo lwa ‘Indicent dressing mu masomero” Minisita Muyingo. Wano w’asabidde abazadde okukozesa oluwummula luno okulaga abaana baabwe ebikolwa ebituufu mu nnyambala, okubayigiriza okukola n’okubagazisa Empisa ennungi.

Yebazizza obukulembeze bw’essomero olw’okusoosowaza ensomesa empya ey’ebyemikono ate ne bagitandisa abaana abato bakule nga balina bye basobola okwekolera, yebazizza n’abasomesa b’agambye nti bambala bulungi era ajja kubakozesa nga kya kulabirako mu kaweefube gw’agenda okuteekako amaanyi. Abeebazizza olw’enteekateeka y’omukolo naddala okutendeka abaana mu bitone eby’enjawulo.

Owek. Bwanika omutandisi w’essomero lino asinzidde wano n’ategeeza nti ebyenjigiriza y’emu ku mpagi enkulu eziwanirira Eggwanga era asabye buli muntu busobozi bwe okubaako ettofaali ly’agatta ku byenjigiriza bya Uganda naddala nga ne Ssaabasajja Kabaka y’emu ku nsonga kw’atadde amaanyi. Ono era yebazizza Hon. Muyingo olw’amaanyi g’atadde mu kusitula ebyenjigiriza by’Eggwanga n’okuviira ddala mu kiseera we yabeerera Minisita w’Ebyenjigiriza mu Gavumenti ya Kabaka.
Omukulu w’essomero lino Omuky. Nakayima Joyce agamba nti mu kwagala okutumbula Empisa ez’enjawulo mu baana, buli lusoma babeera n’omulamwa, era mu lusoma olukomekkereza omwaka guno batambulidde ku mulamwa gwa kulwanyisa bukyafu na kasasiro era bayigiriza abaana ebintu ebisobola okukolebwa okuva mu kasasiro nga bya mugaso, bwatyo n’asaba abazadde okubakwatizaako abaana obuteerabira bye bayize.

Mu kuggulawo essomero lino erisangibwa e Lukuli mu ggombolola Makindye Mut. III, wabaddewo n’okutikkira abaana abamazeeko omutendera gwa Nnassale wamu n’okwolesa ebitone eby’enjawulo omuli okuyimba, okuzina, katemba, emizannyo n’ebirala.