
Bya Gerald Mulindwa
Lubiri – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza Ssaabasajja Kabaka nti essuubi ly’abantu mu Buganda liri mu Nnamulondo era abantu bwe bakulabako emitima gibadda mu nteeko.
Obubaka buno, Kamalabyonna Mayiga abuweeredde mu Lubiri e Mmengo ku mukolo gw’ okumalako omwaka n’ okutikkira Omuzira mu Bazira ng’ ono yabeera omuwangizi w’e Ntanda nga byonna bitegekebwa leediyo ya CBS FM.
“Omwaka guno abantubo bano baamala ebbanga ggwanvu nga bammanja Ssaabasajja. Era mmwe abazze mwesiimye nti Ssaabasajja Ali nammwe.
“Ka mbabuulire nti teri muntu ayinza ku kwagala kusinga kitaawo, ffe mu Buganda Kabaka ye kitaffe era yatuwadde obubaka mwabaddemu ennyingo 12 bwe munaazigenderako 2025 mugenda ku mumalako nga muli bawanguzi,” Owek. Mayiga bw’ annyonnyodde.
Katikkiro aloopedde Beene enteekateeka z’entanda ya Buganda evuganyiziddwamu abantu abasobye mu 30 abaawano n’emitala w’amawanga, era John Kizito Lukoma ye muzira mu bazira 2024, ow’emitala wa mayanja ye John William Kizito.
Beene asiimye n’awa John Kizito Lukoma ekyapa ky’ettaka, pikipiki kapyata, n’obukadde bwa siringi butaano nga mwebaza olw’ okuwangula.









