
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda, Owek. Robert Serwanga asisinkanye abakulembeze ba ttiimu z’Amasaza ennya (4), azaatuuse ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo. Bano abayozaayozezza olw’okutuuka ku mutendera guno n’okuba nti boolesezza omutindo oguyambye okusukkuluma ku balala. Abalabudde okusigala nga beetekateeka bulungi ng’agamba nti ttiimu enasinga okweteekateeka obulungi y’ejja okusitukira mu kikopo ky’omwaka guno.

Minisita Serwanga agamba nti wabaddewo okusoomooza okwenjawulo okuva empaka z’omwaka guno bwe zaatandika, kyokka ensonga y’empisa ekwatiddwa bulungiko bw’ogeraageranya n’ebiseera ebiyise. Anokoddeyo okusoomoozebwa okw’obubenje obw’enjawulo obwakosa abazannyi, abawagizi n’abakulembeze mu mpaka zino, era alabudde abawagizi abakyakozesa obubi enguudo, nti omupiira gulabwa mulamu n’olwekyo tebasaanye kulagajjalira bulamu bwabwe.
“Empaka zituuse wezinyumira ennyo, ku mutendera oguddirira ogusembayo, ate nga entikkko y’Empaka zino eriwo nga 2 Museenene, 2024” Owek.Sserwanga. Kuno ayongeddeko nti bonna abaatuuse ku ‘Semi Finals’ bonna baakulabwako ku lunaku oluggalawo empaka, nga abamu banaaba balwanira ekikopo ng’abalala bawakanira kifo kyakusatu.
Minisita agamba nti omupiira oguzannyiddwa mu mwaka guno gubadde mulundi ddala, era ttiimu ez’enjawulo zitaddewo okuvuganya okw’amaanyi, era bwatyo akoowodde abantu obutasubwa kunyumirwa ezannya 2 eza Semi Finals Kyaddondo mwattunkira ne Buddu ate nga Kyaggwe bubeefuka ne Buweekula okulaba ani atuuka ku luzannya olw’akamalirizo.

Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mengo, yeetabiddwamu abamyuka b’Abaami b’Amasaza ow’e Kyaddondo Omw. Bakulumpagi Ronald n’owe Kyaggwe Omw. Katende Fred Kangave, Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka Empaka zino Sulaiman Ssejjengo n’abolukiiko lwe wamu n’abakulembeze ba ttiimu ennya (4) Kyaddondo, Buddu, Buweekula ne Kyaggwe.