
Bya Pauline Nanyonjo
Kakeeka – Mmengo
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Eby’obulambuzi n’Olulimi mu Bwakabaka, Owek. Dr Anthony Wamala asabye abayizi okukozesa ebitone byebalina okuyitimuka era bibayunge ku bantu ab’omugaso olwo ensi ebanguyire.
Obubaka buno, Owek. Wamala abuwadde aggalawo empaka z’ abaana bamasomero mu Buganda abavuganyizzza mu nnyimba, amazina ne katemba eziyitibwa Buganda Royal Art Shield Festival- BRASFIELD eziyindidde ku Muteesa I Royal University era omuwanguzi akwasidwa Engabo.
Minisita Wamala agamba nti ekitone kirina kisobola okyanguya ebintu bingi era nekibayamba okuyiga okukolagana nabantu, okubeera obumu, okwekiririzaamu singa Nnyinimu akikwata obulungi.
Ono yeebazizza amasomero ageetabye mu nteekateeka eno nga basomesa era n’okuteekateeka abayizi mukuyimba okuzannya emizannyo n’okutontoma ekyongera okuwa abayizi omukisa okukyusa obulamu bwabwe.
Owek. Wamala asabye abazadde bayambe nnyo abaana babwe okukuza ebitone byabwe era abasabye okubeerawo n’omwaka oguddako.

Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi olw’empaka zino Dr Wamala Kintu ategeezezza nti omwaka guno batambulidde ku mulamwa ogwa mazaalibwa ga Kabaka nga byonna byebakoze omuli amazina ga bakisimba, obuyiiya bwe nyimba z’amaloboozi byolesedwa bulungi amasomero agetabyemu era bonna bavuddeyo bawanguzi
Empaka zino ziwanguddwa aba Clevers Origin Schools ku mutendera gwa Pulayimale era omutandisi w’essomero lino Mugwanya Christopher principle yeebazizza nnyo Ssaabasajja olw’enteekateeka eno eyigiriza abaana eby’ennono, empisa n’okumanya okuvuganya basobole okumanya nti ensi gye bayingiramu ya kuvuganya.
Nakiganda Hellena asoma P6 ku Good Times Infant School e Kawaala alaze esanyu olw’essomero lye okukwata eky’okubiri era nategeza nti ayize ebintu bingi kwosa n’okumanya amannya ga Ssaabasajja ag’enjawulo.
Amasomero agasuka mu 19 ge geetabye mu mpaka zino nga ku mutendera gwa Siniya era omutendera guno guwanguddwa aba St Mary’s Assumption secondary School nedirirwa Janan Schools.