Bya Ssemakula john
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda butongozezza empaka z’amasaza ez’eggaali ezigenda okubeerawo buli mwaka okujaguza emyaka ettaano egya BBS Terefayina gyemaze nga eweereza abantu ba Kabaka mu kisaawe ky’empuliziganya.
Enteekateeka eno etongozeddwa mu bimuli bya Bulange ku Lwokuna nga etuumiddwa ‘Kengere ya MTN ne BBS’ nga zakubaawo omwezi ogujja mu Buddu nga ziwagiddwa kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN n’ekitongole ky’Obwakabaka ekya Majestic Brands.
Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno ssenkulu wa BBS Terefayina, Omuk. Patrick Ssembajjo, ategeezezza nti kino bakikoze okuddiza ku bantu ababawagidde ebbanga wamu n’okutumbula omuzannyo guno.
“Tuli basanyufu okuddamu okugatta amasaza ga Buganda nga tutumbula omuzannyo gw’eggaali era kiyambeko n’okukuuma abantu ba Kabaka kuba Beene abantu be abaagala balamu,”Omuk. Ssembajjo bw’annyonnyodde.
Eyakiikiridde kkampuni ya MTN ku mukolo guno, Joseph Bogera annyonnyodde nti omuzannyo gw’eggaali mukulu nnyo mu Buganda era nga kkampuni basazeewo okugubbulula wamu n’okulaba nti bayimusa ebitone ebiri mu muzannyo guno.
Ate ye Omwogezi w’ekibiina ky’abavuga obugaali mu Buganda (Buganda Cyclists Association), Mathias Lukwago agambye nti amasaza gasabiddwa okuteekateeka ttiimu zaago ezigenda okwetaba mu mpaka zino kisobozese okutumbula omuzannyo guno.
Okusinziira ku Lukwago eggaali zitegekeddwa mu mitendera esatu okuli maanyi ga kifuba, eggaali eza ‘Changer’ awamu n’eggaali z’abakyala.
Ono agamba ku lunaku olusooka eggaali za ‘Changer’ zakuvuga okuva e Masaka mpaka Kyazanga ku Lwomukaaga. Ate olunaku lwe lumu olw’eggulo eggaali maanyi ga kifuba zivugibwe kilomita 40 awamu n’emitendera emirala.
Abawanguzi ku mitendera okuli; ogwa abaami, abakyala awamu n’essaza erigenda okusinga bakuweebwa ebirabo ebiwerako era enteekateeka eno ejja kubeerangawo buli mwaka.