
Bya Shafik Miiro
Kakeeka – Kyaddondo
Empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2025 zitongozeddwa ku mukolo amakula ogubadde ku Buganda Royal Institute e Mengo.
Minisita w’Ebyobulambuzi mu Buganda, Owek. Anthony Wamala bw’abadde atongozza empaka zino ategeezeza nti empaka zino zitegekebwa okusobola okusitula ekifaananyi ky’omwana omuwala naye n’ekisingira ddala Bannalulungi bano okutumbula ebyobulambuzi bya Buganda ne Uganda.
Owek. Wamala agamba nti ebyobulambuzi bukulu nnyo kubanga bisobola bulungi okuvaamu ensimbi nokuleetawo enkulaakulana eyamaanyi.
“Miss Tourism Buganda empaka ezituyamba okutumbula Obuwangwa n’Obulungi bwa Buganda, era ndi musanyufu okulaba ng’abawala okuva mu Masaza 18 beenyigira mu mpaka zino, kino kyongera okunnyikiza ekitiibwa kya Buganda n’Obuwangwa bwayo” Owek. Wamala bw’ annyonnyodde.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba asinzidde wano n’akubiriza abawala bonna abagenda okwetaba mu mpaka zino okwenyumiriza ennyo mu buwangwa bwabwe n’ ennono era n’abasaba okweyambisa empaka zino babutumbule.
Ye Ssenkulu w’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda Omuk. Najib Nsubuga Ssekikubo ategeezeza nti empaka zino si za kulaga bulazi bulungi wabula zigenderwamu kutumbula bulambuzi buwangwa n’ennono za Buganda okubimanyisa eri Ensi.
Omuk. Nsubuga asabye abantu ba Buganda okuwagira abaana abagenda okwetaba mu mpaka zino mu mbeera zonna. Ono era akikaatiriza nti empaka zino zeetabwamu bawala wakati wa myaka 18-25 era tezikkirizibwamu baazaalako.
Ategeezeza nti empaka z’omwaka guno zaakutambulira ku mulamwa ‘Ndi buwangwa bwange’
Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda ow’omwaka 2024, Kisha Ruth Namale, mu kwogera kwe atenderezza empaka zino zaagambye nti ziyamba abaana abawala okusitula ekifaananyi kyabwe mu bantu, ate n’okubawa omukisa okwongera okutegeera Obuwangwa n’Ennono zaabwe.
Ono bwatyo akunze bawala banne okuvaayo bavuganye omwaka guno era ayagaliza anaasinga ku balala okuwangula.
Kinajjukirwa nti empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda zitegekebwa okuviira ddala mu Masaza ng’abawala okuva mu buli ssaza bavuganya ne kuvaako 3 abakiikirira buli Ssaza ne bavuganya okufunako abawanguzi basatu aba Buganda yonna, bano ate oluvannyuma bakiikirira Buganda ku mutendera gwa Uganda.

Ku mulundi guno, muwanguzi agenda kuweebwa emmotoka kapyata era guno gugenda kubeera mulundi gwa kubiri ogw’omuddiringanwa ng’omuwanguzi aweebwa ekirabo ekikula kino.