
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda Owek. Dr. Anthony Wamala akubiriza abaluŋŋamya b’emikolo okukola omulimu gwabwe n’obukugu gufuuke gw’amaanyi.
Okwogera bino, Minisita asinzidde ku mpaka za Atamukutte 2025 ezakamalirizo ‘ezeetabiddwamu abaluŋŋamya b’emikolo ku mukolo oguyindidde mu luggya lwa Bulange e Mmengo.
Oweek. Wamala agamba nti abaluŋŋamya beetaaga okukola emirimu gyabwe nga abasomesa kubanga tebasobola kusomesa bantu nga tebamanyi kye bogerako n’olwekyo baasanidde okwongera okugaziya obwongo bwabwe nga bayita mu nteekateeka nga zino.
“Enteekateeka nga eno eya ‘Atamukutte’ ziggya kuyambako Obwakabaka okuggyayo omulamwa gw’obuwangwa n’ennono nga abaluŋŋamya boogiwaza obwongo bwabwe okukola omulimi gwabwe n’obumanyi ekisitula ekifaananyi ky’Obwakabaka,” Minisita Wamala

Minisita akubirizza abaluŋŋamya begatteeko omuwendo gw’empisa n’obuntubulamu nga beewala okukulupya ssente za banannyini b’emikolo kubanga kibaswaaza nga kiyinza n’okubaleetera okuggyibwaamu obwesigwa.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba asabye abaluŋŋamya okwongera okuyambako okubangula abantu ab’enjawulo mu Bwakabaka mu kumanya ennono n’obuwangwa nga bwe bakola nga bayita mu mpaka nga zino enkulu ennyo.
Nnamwama agamba nti kino kiyambako n’okutuukiriza omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw’okwewummuzaamu ekiyamba abantu okuwagala obwongo. Ssenkulu wa BBS Terefayina Omuk. Eng. Patrick Ssembajjo asinzidde wano ne yeyama okwongera amaanyi mu mpaka zino zisobole okutuuka ku mutendera gwe ggwanga lyonna.
Ssentebe w’Abalungamya b’Emikolo Mw. Ismail Kajja agamba nti enteekateeka eyitiibwamu abawanyi (abameganyi) okukyusa embeera yaabwe nga bafuna ebirabo ebibaweebwa abavujjirizi ab’enjawulo.
Mw. Kajja agamba nti pulogulamu ya Atamukutte 2026 egenda kukiriza n’abatali baluŋŋamya ba mikolo betabemu kubanga balina okukiriza nti bafunye obumanyirivu okwetaba mu mpaka zino ezimaze akabanga nga zitojjera.
Ssaabawanyi w’omwaka guno ye Mw. Kakeeto Ivan, akutte ekyokubiri ye Mw. Sserwano David, ate ekyokusatu Ssenkungu Rajab.










