Ebitongole by’obwaKabaka byetabye mu mizannyo egy’enjawulo wali mu kisaawe e Namboole.
Ekigendererwa gy’emizannyo gino kwekukuuma abakozi b’Obwakabaka nga balamu bulungi, okwewummuza okuva ku mirimu gyebakola egya woofisi ate era n’okusobozesa abakozi bano okumanyigana nga bbo abakozi b’ebitongole bino.
Emizannyo gino gitegekebwa buli mwaka era nga Minisitule y’ebyemizannyo n’okwewummuza mu Gavumenti y’Emengo ekulemberwa Minisita Henry Sekabembe Kiberu y’ekulemberamu enteekateeka eno. Ebimu ku bitongole eby’etabye mu mizannyo gino mwabaddemu Administration bano nga bekivunaanyizibwa okulaba entambula y’emirimu mu bwa Kabaka, Buganda Land Board, Namulondo Investments, Lubiri Nabagereka Primary School, Buganda Royal Institute, Majestic Brands n’ebitongole ebirala bingi.
Omumyuka wa Katikkiro asooka Owek. Dr. Hajji Twaha Kawaase yeyabaddewo nga omugenyi omukulu era yebaziza nnyo abategesi b’emizannyo gino n’ategeza nga bwekiri ekirungi abakozi okufunangayo akadde nebawummula okuva ku mirimu gya woofisi ate nebasanyukamu. Era Owek. Kawaase yanyonyodde amakulu g’emizannyo nti ekikulu sikyakugya kusinga, wabula okubeera obumu nga abakozi abakolera obwa Kabaka awamu n’okwongera okumanyigana. Owek. Kawaase yayongedde neyebaza abakozi bonna olw’okujjumbira emizannyo gino era n’okuteekamu obudde bwabwe okujetabamu.
Mumizanyo egy’enjawulo egyakoleddwa mwabaddemu okusamba omupiira gw’ebigere, okudduka emisinde emimpi n’emiwanvu, Okubaka omupiira gwa bakyaala, okusika omugwa, awamu n’emizannyo gy’ebyensanyusa nga okuteeka amazzi mu ccupa.
Emizannyo gyagenze okuggwa nga ekitongole eky’Ettaka ekimanyiddwa nga Buganda Land Board (BLB) ky’ekiridde mu binne wabyo akendo mu mizannyo gyona egya wamu era Owek. Twaha Kawaase yabakwasiza ekikopo.