
Bya Shafik Miiro
Kawanda – Kyaddondo
Empaka z’Emizannyo gy’Amasomero mu Buganda zikomerezeddwa n’abawanguzi okuva mu mizannyo egy’enjawulo era Minisita w’Ebyenjigiriza, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko kulwa Katikkiro asabye ebitone mu baana biteekebweko amaanyi kiyambe okuzimba eggwanga.
Empaka zino zimaze ennaku 5 nga ziyindira ku ssomero lya Kawanda SS era nga zetabiddwamu amasomero ku mutendera gwa Pulayimale awamu ne Senkendule nga abayizi batunse mu mizannyo egy’enjawulo.
Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka yaggaddewo empaka zino ne yeebaza abaliko kye bakoze okulaba nti empaka zino ziyimirirawo naddala olw’ekigendererwa ekikulu eky’okutumbula ebitone by’abaana.
“Ssaabasajja Kabaka bwe yali ajaguza emyaka 30 ku Nnamulondo, yatulagira okuteeka essira ku kukuza ebitone mu bavubuka, kale Obwakabaka kyebuva buteeka amaanyi ku nsonga eno kubanga ebitone biyamba okuzimba obumu, omukwano, obulamu obulungi n’okukolera awamu, ate bino bikulu nnyo mu kuzimba Eggwanga” Minisita Nakate.
Owek. Nakate yebazizza nnyo Minisitule y’abavubuka emizannyo n’ebitone olw’enteekateeka empitirivu eziyamba abavubuka naddala mu kutumbula ebitone byabwe.

Ono akikaatiriza nti ebitone biyamba abaana okubeera n’emibiri egikola obulungi ekiyamba okugatta omuwendo ne ku by’omukibiina bye basoma.
Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda, Owek. Robert Serwanga yeebazizza amasomero ageetabye mu mpaka zino okuli aga Secondary 49 n’aga Primary 21 omuvudde ttiimu 93 n’abazannyi 2600 mu mizannyo egy’enjawulo.
Owek. Serwanga asabye amasomero gongere okuteeka essira ku by’emizannyo by’agambye nti birimu ensimbi mpiritivu ezisobola okuyamba okukulaakulanya Eggwanga naddala nga bannabitone bakwatiddwako kuva mu buto ebitone bye balina.
Atenderezza omutindo ogw’oleseddwa mu mizannyo egy’enjawulo era agamba nti essuubi lya maanyi nti emizannyo mu Buganda gya kwongera okukula.
Emapaka zino zetabiddwamu abalenzi nga bavuganyiza ku Kabaka Cup n’abawala nga bavuganyiza ku Nnaabagereka Cup era emizannyo ettaano (5) gye gizanyiddwa okuli; Omupiira ogw’ebigere, Okubaka, Volleyball, Handball ne Basketball
Amasomero agasitukidde mu bikopo mu mizannyo egy’enjawulo kuliko; Kawempe Muslim SS, Buddo SS, St. Noa Primary School, Katale Progressive Primary, Wampeewo Ntake SS, Mbogo High School n’amasomero amalala.
