
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna akubirizza abantu okunoonya zzaabu ku mikutu gy’emitimbagano basobole okuteekawo enkyukakyuka.
Bino abitadde mu bubaka bw’atisse Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki bw’abadde atikkula oluwalo olusobye mu bukadde 50 oluvudde mu ssaza Gomba, n’abavubuka abeegattira ku mikutu gy’emitimbagano okuli; “Buganda Kwe Kwaffe” ne “Buganda Yiyo Buganda Yange” abakiise ku Bulange e Mmengo.
Mu bubaka bwe, Katikkiro agamba nti emikutu gy’emitimbagano gisobola okuyambako abantu okufuna emirimu egivaamu ensimbi awamu n’okukwana emikwano egisobola okukyusa obulamu bwabwe.
Ye Oweek. Joseph Kawuki abakubirizza abantu okubeera obwerinde eri abo abasekeeterera Obwakabaka n’abasaba okukozesa buli kkubo okusaabulula obulimba bwe batambuza, era we yebalizza aba Buganda Yiyo Buganda Yange awamu ne Buganda Kwe Kwaffe abaasitukiramu okukozesa tekinologiya nga eky’obulwanyi eri abo abalumba Obwakabaka.

Oweek. Kawuki era agamba nti embeera y’abantu ba Ssaabasajja abava e Gomba ekyuse nnyo nga kino kyeyolekedde mu luwalo lwebaleese olwaleero okusinziira ku mwaka oguwedde watyo n’abakubiriza okuwuliriza ennyo enteekateeka eziva mu Bwakabaka zisobole okubayambako okukulakulaana.
Ssenkulu w’Ekitongole ky’obulambuzi mu Bwakabaka Omuk. Najib Nsubuga, nga naye omu kw’abo abegattira ku mikutu egilwanirira ekitiibwa kya Nnamulondo, agamba nti emikutu gy’omutimbagano gibayambyeko okukwatagana nga abavubuka okusobola okuteekawo enkyukakyuuka mu bulamu bwabwe.
Omwami w’essaza Gomba Kitunzi Owek. Mugabi Fred William yebaziza abakulembeze mu gavumenti eyawakati n’abakowoola obutasoomoozebwa bizibu kubanga woofiisi ye netegefu okubudaabuuda bonna awatali kutaliza.
Oluwalo luno lwetabiddwako Omukiise wa Bavubuka mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu Oweek. Dr. Rashid Lukwago, Mw. Patrick Ddamulira Omumyuka wa Kitunzi ate nga eggobolola okuva mu ssaza Gomba; Mumyuka Mpenja, Ssaabaddu Maddu, Ssaabawaali Kyegonza, Ssaabagabo Kabulasoke, abakulembeze b’emikutu egyegattira ku mitimbagano; Buganda Kwe Kwaffe Mw. Bashir Kyazze, Buganda Yiyo Buganda Yange Mw. Munaawa Dan ne bannabyabufuzi ab’enjawulo be beetabye mu nteekateeka eno.









