Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda okwetaba mu nteekateeka y’Emisinde Mubunabyalo egya ‘Uganda Marathon’ egigendereddwamu okuzimba ekisaawe ky’essaza era ekinaakozesebwa ttiimu y’essaza lya Buddu.
Okukunga kuno Owek. Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde akwasa abantu ab’enjawulo abaguze emijoozi okusobola okwetaba mu misinde gino egigenda okubaawo ku Lwokutaano nga 31, May, 2024.
“Emizannyo gyegimu ku makubo agayinza okukung’aanya abantu nebabaako ekiruubirirwa kyebatuukako era bintu bitono nnyo ebigatta abantu okwenkana emizannyo. Emizannyo kikulu era Kabaka atugambye bulijjo tugyeyambise okuggyayo ebitone,” Katikkiro Mayiga bw’agasseeko.
Ono annyonnyodde nti Buganda okudda ku ntikko si ng’ombo naye bakitegeeza nga kino okubaawo n’Amasaza galina okudda ku ntikko bwatyo naayaniriza enkulaakulana eno nakakasa nti lyerimu ku makubo agagenda okuyamba mu lugendo luno.
Ow’omumbuga aera asabye abakulira amasaza wonna mu Buganda okubeera abayiiya era abamalirivu banoonye engeri gyebasobola okuyingizaamu ensimbi zibayambe okulaakulanya abantu ba Beene.
Abali ku mulimu guno, Katikkiro Mayiga abasabye bakiwe obudde era bafube okulaba nti buli ekikolebwa kibeera ku mutindo.
Owek. Mayiga mu ngeri ey’enjawulo yeebazizza Omulangira David Kintu Wasajja olw’okukkiriza nabeera omuddusi omukulu mu nteekateeka.
Ye Ppookino Jude Muleke ategeezezza nti abantu bangi bavuddeyo okuduukirira enteekateeka eno omuli Minisita Kasolo, Omubaka Gorretti Namugga, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba awamu n’amasaza ag’enjawulo.