Musasi waffe
Emisinde mubuna byalo, egitegekebwa buli mwaka okujaguza amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, gitongozeddwa olwaleero mu Bulange. Omulamwa gw’emisinde gino guli,
“Abasajja tulwanyise mukenenya tutaase abaana ab’obuwala”. Ng’atongoza emisinde gino ku Mbuga enkulu e Bulange Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti Kabaka afaayo nnyo kubulamu bw’abantube, kyava akola buli kisaanidde okulaba nga babeera balamu.
“Bwetwatandika emisinde gino twali mu lutalo lwa kulwanyisa okuttonya mu bakyala (Fistula) naddala abawala abato abataneetuuka. Kaweefube twamumalako emyaka esatu ppaka 2016, era twawaayo obukadde 270. Mu 2017 obwanga twabutunuuliza Nalubiri era obukadde 550 twabuwaayo okumala emyaka esatu,”Mayiga bweyagambye. Ku mulundi guno, Kamalabyonna yagambye Ssabasajja yasiimye essira lissibwe ku mukenenya kubanga okunoonyereza kulaga nti akyegiriisa nnyo naddala wano mu Buganda. Abantu 1000 bakwatibwa ate abalala 500 bafa siriimu buli wiiki mu Uganda yonna.
Ssabasajja yalondebwa okukwata omumuli gw’okulwanyisa siriimu naddala mubaami ku lukalu lwa Africa. Katikkiro yategeezezza nti emirundi egisinga obungi, abasajja beebasinga okusasanya akuwuka. “Mwemukwana abawala, naye ekyo bwekiggwa, bwemutuuka mukisenge ebintu bitambulira mumikono gyammwe. N’olwekyo, kikulu nnyo abasajja okutaasa obulamu bwa bakyala bammwe n’abaana,” Mayiga bweyakubirizza. Mu kukuza amazaalibwa ga Ssabasajja, Mayiga yagambye nti guno gwegumu kumikolo emikulu ennyo mu Buganda kubanga obulamu katonda bwawa Kabaka bunyweza ennono n’obuwangwa bwa Baganda. “Kabaka kyekitikkiro ky’ebyo ebitufuula eggwanga erimu. Buli mwaka oguyitawo, Ssabasajja Kabaka tumukulisa ng’omuntu ate n’Obuganda bujaguza kubanga ng’omulembe Omutebi gubeera gwongera okugundiira,” Mayiga bweyagambye. Yagaseeko nti emisinde mubuna byalo yeemu kungeri Obuganda gyebujaguzaamu olw’obulamu Katonda bwaba awadde Kabaka. “Twagala emitwalo mukaaga omwaka guno era twagala gibeere emisinde egisinga okudddukibwa ku lukalu lwa Africa,” Mayiga bweyagambye.
Ate yye, akulira ekitongole kya UNAIDS mu Uganda Dr Karusa Kiragu yategeezezza nti Kabaka akoze omulimu gwamanyi nga ambasada w’okulwanyisa siriimu. “Tulina abantu bangi omuli ba pulezidenti n’ebakyala baabwe, abayimbi n’abantu abalala bangi naye Kabaka wa Buganda bonna abakubya ssubi mukukuliramu kaweefube w’okulwanyisa siriimu,” Kiragu bweyagambye. Yasanyukidde omukago gwebagenzeemu ne Airtel nagamba nti alina essuubi nti siriimu wakutuulwa ku nfeete. Kululwe, VG Somasekhar, akulira Airtel mu Uganda yagambye nti tebali muggwanga kuweereza bantu mubyampuliziganya kyokka, wabula n’okuyamba abantu okumanyagana n’okutumbula eby’obuwangwa byabwe. “Ebyempuliziganya tubyetaaga okutumbula embeera z’abantu. Tulina okufuba okulaba nti nga bwetutumbula tekinologiya, tetuteekeddwa kusanyawo mpisa n’abulombolombo bw’abantu,” Somasekhar bweyagambye.