
Bya Shafik Miiro
Mpala – Busiro
Minisita w’ Obwakabaka ow’ ensonga ez’enkizo mu Woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba asabye Abantu okukomya okuvvoola emikolo gy’ obuwangwa nga beekwasa eddiini.
Obubaka buno, Owek. Kiyimba abuwadde yeetabye ku mukolo gw’okwanjula e Mpala mu maka g’Omwami Kibirige Francis n’Omuky. Joyce Kibirige ku Lwokutaano.
Minisita Kiyimba Abantu abeefuula abasomi ebyo badibaze emikolo gy’okwanjula n’okwabya ennyimbe .

“Eky’okubeera n’eddiini tekikugyaako kumanya buwangwa na nnono, waliwo abatuuka n’okufumbiza abeddira omuziro gwe gumu naye ekyo kibeera kya kulabira bintu kumpi na butawaayo budde kumanya, wano wetulabidde n’abafumbiza ab’ekikula ekimu omuwala n’omuwala oba omulenzi n’omulenzi, bino tulina okubirwanako tukuume ekitiibwa kyaffe” Minisita Kiyimba.
Owek. Kiyimba agamba nti Obuwangwa n’eddiini tebiteekeddwa kukontana wabula okwongera okuzimba obumu mu bantu nga waliwo okussa ekitiibwa mu bigobererwa ku njuyi zombi.
Wano we yeebalizza Mw. Kibirige Francis taata w’omuwala nti newankubadde mulokole, ategese omukolo gwa muwala we wakati mu kussa ekitiibwa mu buwangwa obugobererwa mu kwanjula.
Nabunnya Solome ye muwala wa Kibirige ayanjudde munne Daudi Mugisa mu bazadde be, era wano Minisita Kiyimba yebazizza Nabunnya olw’okussa ekitiibwa mu bazadde be n’abaaletera munne gw’alonze mu bangi.

Ababiri bano abasibiridde entanda ya kwagalana okujjudde buli omu okufaayo okwagaliza munne ekirungi awatali kwesukkulumya oba kulengeza mulala.
Mu ngeri y’emu, Minisita Kiyimba akuutidde abavubuka obutatya bufumbo ng’akikaatiriza nti omuntu bw’atuuka mu myaka egifumbirwa abeera atuuse mu kiseera ekibanja omubeezi, bwatyo n’asaba abo abatuusiza obuteesisigiriza.