
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti emikolo egikulembera awamu n’egy’entikko egy’ Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II egy’emyaka 67 gyongezeddwayo.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu Bulange mu lukiiko lwa bannamawulire ku Mmande bw’abadde ayogera kukwongerayo omukolo gw’Amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka 2022.
“Muntereeza eza bulijjo tudduka Ssande ekulembera Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka naye tekyasobose, okusooka emijoozi gyakatuuka era wenjogerera giri nab’omusolo . Eky’okubiri Omutanda taliiwo. Kale netulowooza nti ensi tusaana tugitegeeze ddi lwetunadduka,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti basuubira okudduka mu mwezi gw’okutaano naye olunaku lwennyini bajja kulutegeeza ensi.
Owek. Mayiga agamba nti tebayinza kukola mikolo gino mungeri epapiriza kuba emisinde gino gigendererwamu okulwanyisa akawuka ka Mukenenya okulaba nti omwaka 2030 wegunatuukira nga afuuse lufumo era gwe mulamwa gw’Omwaka guno nakunga abantu okugijjumbira.
Ye Minisita w’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu Owek. Henry Kiberu Ssekabembe ategezezza nti enteekateeka yonna empya yakutegeezebwa abantu ba Beene akadde konna.
Kinajjukirwa nti amazaalibwa gano gakuzibwa buli nnaku z’omwezi 13/ 04 buli mwaka era Ssande eddirira amazaalibwa wabaawo emisinde gimubunabyalo okulwanyisa endwadde enjawulo wabula emyaka 3 egisembyeyo omutanda yasiima emisinde gino gibeere ku kulwanyisa Mukenenya.









