Musasi waffe
Emikolo gy’eggye ly’eggwanga egya UPDF gyakutegekebwa mu bitundu bya Kanyigo k’e Luwero [Luwero triangle] mu masaza ga Ssaabasajja Kabaka ag’e Bulemeezi, Busiro ne Buluuli. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ayogerera amagye g’eggwanga buligediya Richard Karemire, okujjukira nga bwegiweze emyaka 39 okuva amagye ga NRA kati agayitibwa UPDF agaali gaduumirwa Yoweri Museveni nga kati ye mukulembeze w’eggwanga, gyakubeera mu disitulikit ye Luwero, Nakaseke, Nakasongola ne Wakiso. Gino gyakutandika wiiki ejja nga Gatonnya 28 n’okutongozebwa ku kitebe kya magye mu Kampala. Oluvanyuma wajjakubaawo okutongozebwa mu disitulikiti zonna gyegigenda okubeera. Mu sabiiti ekulembera emikolo emikulu eginda okubeerawo nga Mukutulansanja 06 mu Nakaseke, wajja kubaawo okuyonja ebifo eby’enjawulo omuli amasomero, amalwaliro n’enguudo abasirikale ba UPDF yonna gyebali okwetoolola eggwanga. Karemire yategeezezza nti ekitundu ky’e Luwero kya mugaso nnyo kubanga eno olutalo lw’okwenunula gyerwalwanirwa.