Bya Doreen Nakagiri
Bulange
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abantu okulwanirira obutonde bw’ensi kubanga ky’ekyobugagga Uganda ky’erina so si amafuta abasinga nga bwe balowooza.
“Eky’obugagga ekisinga Katonda kye yatuwa bwe butonde bw’ensi. Tosobola kugeraageranya mafuta gali mu buwarabu ne kkula lino ery’ensi Uganda. Era bali abalina amafuta bafuba nnyo okufuula ensi zaabwe eza kiragala.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Bino Katikkiro abyogeredde mu Bulange – Mmengo ng’atongoza bboodi ya Bulungibwansi mu bimuli bya Bulange leero ku Lwokuna.
Ono agambye nti abantu bagenze mu maaso n’okusaanyaawo eky’obugagga kino kubanga tebamanyi mugaso na bukulu bwa butonde era nga kino kigenda kusaanyaawo ekitiibwa ky’ekkula ekyaweebwa Buganda.
Katikkiro Mayiga alabudde abalima mu ntobazzi n’okutema ebibira nti bali mu kusaanyaawo nnono ya Buganda kuba ebika ng’Emmamba, Omusu n’ebirala, byonna byetooloolera ku butonde bwansi.
“Tuli balagajjavu naddala ku nkwata y’obuveera n’ebintu byonna ebyamasanda (Plastics), akaveera kamala mu ttaka emyaka bitaano, kwe kugamba singa baasuula akaveera ku mulembe gwa Ssekabaka Kamaanya, kati lwe kandibadde kakutuka,” Mayiga bw’alabudde.
Asabye abantu wonna we bali okufuba okulaba nga bakuuma obutonde, kitaase eggwanga okufuuka eddungu nga banywerera ku kiteeso ky’olukiiko ekiragira okusimba emiti ku bijaguzo ebyenjawulo.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti enkola ya Bulungibwansi etegeeza kwebeereramu ng’omuntu awangaalira mu maka amayonjo, amakubo amalime wamu n’enzizi ezigogoddwa obulungi.
Owek. Mayiga akuutidde bboodi empya okugatta obutonde bw’ensi n’enkola ya Buganda ey’edda eya Bulungibwansi, era nga bano Beene yabalonda nga asinziira ku busobozi bwabwe.
Bboodi empya ekulemberwa Proscovia Nanyonjo Vikman n’amyukibwa Rev. Wilberfoce Ssekasiko era ng’olukiiko luno lutuulako n’abantu abalala.
Ssentebe wa bboodi eno omuggya, Proscovia Nanyonjo Vickman, aweze nti baakukola obutassa mwoyo okulaba nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa.
Ku lw’okutaasa obutonde, Obwakabaka busse omukago n’ebibiina ebirwanirira obutonde bw’ensi okuli; WORLD WIDE Fund For Nature WWF, Climate Action Network Uganda ne CAN U, era ng’omukago guno Kamalabyonna y’agutongozza.
Ate ye Minisita w’ebyobulimi n’Obutonde bw’ensi, asinzidde ku mukolo guno n’akuutira abantu okwongera okujjumbira okusimba emiti, kitaase obutonde obwongedde okusaanawo.