Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omubaka wa Busiro East mu Palamenti, Medard Ssegona agamba obukulembeze mu Buganda ensangi zino bufuuse buzibu kuba buli muganda yetwala okubeera omugezi ekireetera omulimu gw’okubakulembera okukaluba.
Bino omubaka Ssegona abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde akulembeddemu Bannabusiro okwetaba ku mukolo gw’okutongoza Oluwalo lw’omwaka 2023 era nokuwaayo olwabwe.
“Ensangi zino obukulembeze buzibu naddala bwoba okulembera Buganda kuba buli muganda mugezi , abagezi tetukulemberekeka era naawe okutukulembera olina kubeera mugezi si nakindi nokutusingako,” Ssegona bw’ategeezezza ababadde mu Luwalo.
Owek. Ssegona era yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubeera mugattabantu mu Buganda kuba akoze nnyo okusembeza buli muntu awatali kwawula mu mawanga era namwebaza okubeera eddoboozi lyabo abanyigirizibwa.
Ssegona agumizza Katikkiro Mayiga ku bamulumba namukakasa nti buli Katikkiro wa Buganda abaddeko afunye ku kusomoozebwa kuno nga Nsibirwa yattibwa ate abaganda waliwo lwebatabukira Mayanja Nkangi naye namugumya nti ebyo byonna babikola kw’oyo yekka aliko ebibala.
Omubaka Ssegona yeenyamidde olw’ abavubuka mu Buganda okutandika obutawa bantu bakulu kitiibwa nga buli agezaako okubalaga ekituufu nabuli asitukamu bamwogerera nga bweyaguliddwa ekiremesa okuzimba abakulembeze abalala.
“Omuganda wa wano bwakukyawa akuvuma ebintu bibiri, ekisooka nti toli muganda eky’okubiri nti gundi yakugula. Mu katale k’abantu waliyo agula tumumanyi naye era naye agula bajooze abo balaba nti bafaanana endiboota,” Omubaka Ssegona bw’annyonnyodde.
Omubaka Ssegona asabye Katikkiro alagire abavubuka bawulirize nga abantu abakulu nga baliko kyebabagamba kubanga babeera n’ensonga.
Ku bugenyi buno omubaka Ssegona aguze Satifikeeti ya kakadde kalamba okuwagira emirimu gya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.