
Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga agamba nti ekikuumidde amawanga ga Africa emabega be bakulembeze abatalina bumanyirivu bumala kutuukiriza buvunanyizibwa bwa bifo bye balimu
Katikkiro okwogera bino abadde ku mukolo gw’okukyusa obukulembeze bwa Nkobazambogo Akalibaakendo mu Bulange e Mengo.
“Ekizibu ky’Ensi zino eza Africa ekisinga obukulu nsonga ya bukulembeze, mu Africa tufuna abakulembeze nga takulemberangako wadde abantu 6, nga talina gye yali akulembeddeko nti oba musomero wadde wa, naye neyesanga mu kifo ekimu mu budde obwo nga yakulembera olwo naavuya” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro awadde amagezi ga bazadde n’amasomero okuyambako mu kuteekateeka abaana bazimbibwemu obukulembeze nga bakyali bato, bayambibweko okukuza ebitone byabwe olwo basobole okufuuka abantu aboomugaso eri Ensi yaabwe.
Owoomumbuga asiimye nnyo abakulembeze ba Nkobazambogo Akalibaakendo abawaddeyo obukulembeze olw’okutuukiriza obulungi obuvunanyizibwa bwabwe era n’ayaniriza n’obukulembeze obuggya n’abakuutira nabo okukola obulungi ebibasuubirwamu baweereze bulungi bannaabwe be bakulembera.
Katikkiro era asinzidde wano n’akubiriza abayizi okukozesa obulungi ebiseera byabwe nga bakola ekintu ekituufu mu budde obutuufu era abalabudde ku kukozesa ebiragalalagala ng’agamba nti bino bikosa ebiseera byabwe eby’omumaaso n’okuleeta endwadde nga ez’emitwe n’endala.

Katikkiro akubirizza abavubuka okunyweza empisa nga bali mu masomero n’awaka, babeere bawulize eri buli omu. Annyonyodde nti omuntu bw’abeera n’empisa ebintu bingi nnyo by’asobola okufuna naddala okuva eei abo abasiimye by’abeera akoze.
Ku mukolo guno, Minisita w’abavubuka mu Buganda naye kw’asinzidde n’asaba abayizi okufaayo okukozesa obulungi emikisa gye balina mu bulamu n’emisomo gyabwe bagitwale ng’ekikulu olwo basobole okuwangula mu Nsi. Ono naye yebazizza Bannankobazambogo olw’okujjumbiranga enteekateeka z’Obwakabaka ne yebaza n’abazadde n’amasomero agawagira abaana mu mbeera zonna okubaako bye bakola okugatta ku Nsi yaabwe.
Derrick Kavuma, Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda akubirizza abavubuka okubeera abeetowaze mu biseera ebyobukulembeze bwabwe ensi okusobola okubanguyira “Mufeeyo nnyo okulaba nga mwenyigira mu bifo by’obukulembeze ebyenjawulo wamu n’okulaba abo abali mu buyinza okulaba nga okufuuka abawanguzi mu buli kimu” Kavuma

Ssentebe wa Nkobazambogo Akalibaakendo awumudde Nansubuga Shaluah awadde alipoota y’obukulembeze bwe mw’alagidde bye basobodde okukola wamu n’ebibasoomozezza. Aloopedde Katikkiro abakulu b’amasomero agamu abatakkiriza bayizi kweyagalira mu buwangwa bwabwe ky’agambye kireetedde abayizi bangi okuva ku mulamwa n’okunaabuka empisa.
Mutebi Akram Miiro ye Ssentebe omuggya owa Nkobazambogo Akalibaakendo mu ggwanga, ono alayiziddwa n’olukiiko lwe okutandika emirimu gy’ekibiina.