Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira Sharia mu ggwanga era omumyuka wa Mufti wa Uganda, Sheikh Muhammed Ali Waiswa, akakasizza nti okusiiba omwezi Omutukuvu ogwa Ramadan kutandika nkya ku Lwokubiri April 13. Waiswa yategeezezza bannamawulire eggulo ku Ssande nti olw’okuba omwezi tegwalabise, ekisiibo kijja kutandika ku Lwokubiri.

Ono yategeezezza nti olw’okuba ekirwadde kya Ssennyiga Corona kikyaliwo, tewajja kubaawo Swalah ya Taraweeh ku muzikiti gwa Old Kampala nga bwe kibadde kitera okuba okuggyako nga Pulezidenti akiggyeewo Kafyu.
Waiswa yasabye abasiraamu okusalira awaka nga bwe balidde ekiva mu gavumenti. Olwa Corona, abakkiriza basabiddwa okugenda n’amazzi gaabwe aga wudhu era bakimanyi nti tewali ajja kukkirizibwa kukozesa kaabuyonjo okwewala okusaasaanya Ssennyiga Corona.
Abasiraamu bano basabiddwa okwereetera emisaalo gyabwe okwewala okusaalira buli we basanze era batambule n’obukookolo bwabwe.
Okusinziira ku Busiraamu okulabika kw’omwezi kusalawo ddi ekisiibo lwe kitandika ne ddi ekisiibo lwe kirina okuggwa.
Mu kaseera kano, abasiraamu tebakomba ku mmere wadde okunywa era buli lwaggulo basisinkana nga famire n’emikwano nga basiibululuka.
Ku mulundi guno abayisiramu mu mawanga ag’enjawulo tebajja kwetaaya bulungi olw’amateeka agaateekebwawo era Eswala z’ekiro asinga tezijja kubaayo olwa kafyu era amawanga ag’enjawulo gasabye abantu okusaalira awaka.









