Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Abaana abagenda okwetaba mu Kisaakaate 2026 basimbuddwa ku Lwokutaano nga 2 Gatonnya okugenda ku Hormisdallen School Gayaza ewakubiddwa Embuga y’Ekisaakaate ky’omwaka guno.

Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita w’enkulaakulana y’abantu mu Buganda ne woofiisi ya Nnaabagereka y’asimbudde Abasaakaate okuva mu Bulange e Mmengo era aliko obubaka bw’awadde naddala ku mulamwa gw’omwaka guno ogugamba nti “Ensibuko y’obumalirivu: Okweyamba obuntubulamu mu kutebenkeza obwongo’.
“Ekisaakaate kino ky’ekyomulundi ogw’e 19, mulaba Maama Nnaabagereka bw’ali omumalirivu mu nteekateeka eno mwaka ku mwaka, ayagala abaana nga bayivu, nga bategeera obuntubulamu batebenkeze obwongo kubanga Ensi gye tutambuliramu omuntu yetaaga okuba ng’atendekeddwa mu buntubulamu okusobola okukola okwesalirawo okutuufu mu bintu eby’enjawulo” Minisita Nakate.
Yebazizza Nnaabagereka olw’omukisa guno gw’ateerawo abaana era bwatyo akubirizza abazadde okujjumbira enteekateeka eno abaana b’eggwanga batendekebwe.

Owek. Nakate ayongedde okwebaza Nnaabagereka okuba nti enteekateeka y’Ekisaakaate yazzeeyo mu Masaza, agamba nti buli omu bw’atuusibwako enteekateeka eno, abavubuka bajja kukwatibwako bonna babangulwe ng’akikaatiriza nti okutegeka abavubuka ttofaali ddene nnyo ku kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.
Minisita Nakate agamba nti okutebenkeza obwongo bw’abaana, kikulu nnyo naddala mu kiseera kino nga tekinologiya yefuze buli kimu ekiviirako abaana okuwulira n’okulaba ebintu bingi oluusi bye batandiwulidde, ne kibatangula mu ndowooza zaabwe, awadde eky’okulabirako eky’abantu abayiga ebiragalalagala olw’okubiraba nga waliwo ababikozesa, abayiga obuseegu n’emize emirala. Ategeezezza nti okutebenkeza obwongo bw’abaana kibayamba okukola okusalawo okutuufu obutatwalibwa buli kye balaba.
Ssaabagunjuzi w’Ekisaakaate Owek. Rashid Lukwago ategeezeza nti enteekateeka y’Ekisaakaate 2026 esimbudde mu butongole, era agamba nga beesigama ku mulamwa gw’omwaka guno bagenda kukola kyonna ekyetaagisa okubangula Abasaakaate batambule mu Nsi muno nga bakola ekituufu nga beesigama ku kusalawo kw’obwongo bwabwe baleme kufugibwa mubiri.
Owek. Lukwago ategeezeza nti abaana bangi abawandiisiddwa okwetaba mu Kisaakaate ky’omwaka guno omuli abazze omulundi gwabwe ogusoose n’abo abakomyewo olw’ebirungi bye baafuna mu mirundi gye baasooka okwetaba mu Kisaakaate.
Guno mulundi gwakubiri nga Ekisaakaate kitegekebwa ku ssomero lya Hormisdallen e Gayaza nga kyasooka kutegekebwayo mu 2024. Ekisaakaate ky’omwaka guno kijja kukomekerezebwa nga 10 Gatonnya.









