
Bya Ssemakula John
Kabembe – Kyaggwe
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abazadde okwongera ku budde bwebawa abaana babwe era bafeeyo kyenkanyi eri abalenzi n’abawala bwebaba babagunjula ensi esobole okubanguyira.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku ssomero lya Kabembe e Mukono mu Kyaggwe bw’abadde aggalawo Ekisaakaate kya Nnaabagereka 2023 ekiyindidde ku Muzza High School ku Lwomukaaga.
Owek. Mayiga agambye nti abazadde bateeka nnyo essira ku baana abawala olwo nebagayaalira abalenzi nebakula nga tebalina buvunaanyizibwa ekyongedde okumalawo obuntubulamu munsi.
Owek. Mayiga ajjukiza abazadde okumanya nti okugunjula omwana kirungi naye bakikole mungeri entuufu era mu mukwano era balondoole biki byebayiga ku mitimbagano kuba wadde giriko ebirungi naye n’eby’obulabe gyebali bingi.

Eri abayizi, Kamalabyonna Mayiga abasabye okuyiga obuwangwa n’ennono awamu n’ennimi zabwe enzaaliranwa nga kuno kwebalina okugatta ebintu ebirala okusobola okwanguya obulamu.
Omukolo gwakulembeddwamu Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda agabudde Abasaakaate n’ekijjulo kya Kkeeki era nabasaba okunyweza byebayize.
Ku mukolo guno, Katikkiro yabadde ne Mukyala, kwossa Baminisita okuva e Mengo; Omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Ailey; aba UNDP, n’abakungu okuva mu gavumenti eya wakati.
Enteekateeka eno evujjiriddwa aba Finance Trust Bank nabakola ku mutindo gw’eddagala, National Drug Authority (NDA) era bano basabye amasomero okunyweza eby’okwerinda ku masomero balemese abantu abakyamu okuyingiza ebiragalalagala eri abaana.
Ye omutandisi w’essomero lino Omuk. Wilson Mukiibi Muzzanganda akozeseza omukisa guno okwebaza obwakabaka olwebyo byatuuseeko olwokubuwereza.

Ekisaakaate ky’omulundi guno kyetabiddwamu Abasaakaate abaasobye mu 500, era batendekeddwa mu mpisa awamu n’okuyigirizibwa ebintu eby’enjawulo.
Ekisaakaate kino kitegekebwa aba Nnabagereka Development Foundation wabula ku luno kibadde n’abagenyi abenjawulo okuli; omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Airey nakiikirira UNDP mu Uganda Elsie Attafuah.









