Bya Maria Gorreth Namisagga
Mmengo – Kyaddondo
Omukulu w’Ekika ky’Omutima Omutaka Namugera Kakeeto Kasekende Nicholas akulembeddemu bazzukulu be okukiika embuga okwanjulira Katikkiro olukiiko lw’ekika oluggya, era ensisinkano ebadde mu kisenge kya Kabineeti mu Bulange e Mmengo.

Nga 18 Mutunda 2025, Ssaabasajja Kabaka yaweereza obubaka eri Abataka Abakulu b’Ebika era muno yakubiriza buli Kika okulonda ba Katikkiro, wamu n’enkiiko ze bakulembera nazo era abakulembeze abo banjulwe embuga mu butongole.
Ekika ky’Omutima kye kisoose okwanukula ennambika ya Ssaabasajja eno, era Omutaka Namugera Kakeeto owa 47 Nicholas Kasekende, agambye nti ekibaleese embuga kwe kulaga obuwulize eri Ssaabataka mu nsonga y’okutereeza obukulembeze mu bika.
“Nsaba okwanjula ensonga etuleese embuga, nga 18, omwezi ogw’omwenda, 2025, Nnyinimu Ssaabataka, mu mukono gwe yakwata ekkalamu n’awandiikira olukiiko lw’abataka Abakulu b’obusolya, ezimu ku nsonga ez’enkizo, ze yayagala okuba nga zirambika abataka, era mu nsonga emu enkulu eyalimu, y’eyokutereeza obukulembeze mu bika, kyokka nga ate teyaakoma okwo, n’abeera nti yasiima enkiiko ezo zanjulwe e Mengo, n’olwekyo ensonga etuleese embuga yel’eyokuteeka mu nkola ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka eky’okwanjula olukiiko olukulembeze gyooli” Omutaka Namugera abulidde Katikkiro.Olukiiko
Omutaka Kakeeto ayanjudde olukiiko oluggya, n’asaba abakulembeze abalondeddwa okukola enteekateeka ezikulaakulanya ekika era ono abasabye okutaasa ettaka ly’ekika erisangibwa e Mutundwe, n’okulondoola eby’obugagga bye Kika ebirala byonna bikozesebwe mu ngeri entuufu ekika kiganyulwemu n’abazzukulu bafune mu Kika kyabwe bongere okukyenyumirizaamu.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga nga y’omu ku baweereddwa obukulu mu Kika, nga ye muwi w’amagezi ku lukiiko luno, asiimye nnyo Jjajja Namugera olw’obukulu bw’aweereddwa era ne yeyama okukola obuweereza buno n’obwesimbu.

“Nga bwe muwulidde Jjajja aŋŋonnomoddeko Obwami, omuwi w’amagezi asooka ku lukiiko luno olufuzi, Jjajja nsimyee nnyo okunzisaamu obwesige okunnonda ku bukulu buno, nja kkola omulimo mu bwesimbu, era mu busobozi bwange bwonna, era amagezi nja kugawa buli lwe kyetaagisizza, buli lwe ganansabibwanga ate mu mazima amatuufu” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro Mayiga era alaze obukulu bw’ebika, ategeezezza nti ensonga z’ebika nkulu nnyo, kubanga ebika ly’erimu ku masiga asatu Obuganda kwe butudde, ate obulamu bw’Omuganda obwa bulijjo kwe butambulira.
Owoomumbuga asuubizza Omukulu w’ekika Omutaka Namugera, nga bwe bajja okwongera amaanyi mu mirimu gy’enkulakulaana egy’ekika nga bakulemberwamu Katikkiro w’ekika, bwatyo n’asaba banne abali ku lukiiko okubeera abanyiikivu basobole okuteeka ekika ky’omutima ku ntikko.
“Omuntu agaana obuvunaanyizibwa akira oyo abukirizza ate n’atabukola, kale ffenna kasita tukkiriza obuvunaanyizibwa obutuweereddwa tulina okukozesa obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu n’okukola n’okwagala tusobole okutumbula ekika kyaffe” Owek. Mayiga.Olukiiko

Olukiiko olwanjuddwa; Katikkiro w’Ekika ye Frederick Mujjuzi Kiseke, Amyukibwa Ssaalongo Kaggwa Andrew, ate Omumyuka wa Katikkiro ow’e Buddu ye Eng. Ronald Bbaale Mugerwa Bwanika, Abawi b’amagezi ku lukiiko luno Owek. Charles Peter Mayiga ye muwi w’amagezi omukulu, amyukibwa Omuk. Makeera Salim, Owek. Mulagwe Damus ne Luberenga JohnMary Katikkiro w’Ekika omuwummuze, Omuwandiisi ye Ssenkasi Robert ate Omuwanika ye Kirangwa Frank wamu n’abakulembeze abalala era bano bonna baweeredddwa ebbaluwa ezibakakasa ku bukulu obubaweereddwa.
Mu nsisinkano eno, Kamalabyonna awerekeddwako Minisita w’amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Owekitiibwa Israel Kazibwe Kitooke nga y’akiikiridde Minisita w’Obuwangwa Owekitiibwa Anthony Wamala, ate nga Omutaka Julius Kasekende aweerekeddwako Mukyala we Jesca Kasekende, Lubuga we, muwala we Eunice Nakuya, abakulembeze b’ekika, wamu n’abazzukulu b’Ekika kino.









